
38
138:1 2 Byom 32:2438:1 2 Bassek 20:1-11Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala kumpi n’okufa. Isaaya nabbi mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama. 2Awo Keezeekiya n’akyusiza amaaso ge ku kisenge ne yeegayirira Mukama n’ayogera 338:3 2 Bassek 18:5,6nti Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga. 4Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya 5nti Genda ogambe Keezeekiya nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’etaano. 638:6 Is 37:35Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: era ndirwanirira ekibuga kino. 738:7,8 2 Bassek 20:9-11Era kano ke kanaaba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nga Mukama alikola ekigambo kino ky’ayogedde: 8laba, nazzaayo ennyuma ekisiikirize ekiri ku madaala, ekikkidde ku madaala ga Akazi awamu, n’enjuba, ebbanga ery’amadaala ekkumi. Awo enjuba n’eddayo ebbanga ery’amadaala ekkumi ku madaala ge yali ekkiddeko.
9Okuwandiika kwa Keezeekiya kabaka wa Yuda, bwe yamala okulwala era ng’awonye endwadde ye.
1038:10 Zab 102:24N’ayogera nti Mu ttuntu ly’ennaku zange mwe ndigendera mu miryango gy’emagombe:
Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo.
1138:11 Zab 27:13; 31:22N’ayogera nti Siriraba Mukama, Mukama mu nsi y’abalamu:
Siriraba bantu nate wamu n’abatuula mu nsi.
1238:12 Yob 4:20; 6:9; 7:6, 2 Kol 5:1Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako ng’eweema ey’omusumba:
Nzinze obulamu bwange ng’omulusi w’engoye; alinsala ku muti ogulukirwako:
Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
13Neesirisa okutuusa enkya; ng’empologoma, bw’amenya bw’atyo amagumba gange gonna:
Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
1438:14 Zab 69:3, Is 59:11Ng’akataayi oba sekanyolya, bwe nnavulungutana bwe ntyo;
Nawuubaala nga kaamukuukulu: amaaso gange gafuuyirira olw’okulalama;
Ai Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange.
15Naayogera ntya? yayogedde nange era ye yennyini ye akikoze:
Naatambulanga mpola emyaka gyange gyonna olw’okubalagalwa kw’obulamu bwange.
16Ai Mukama, olw’ebyo abantu baba balamu,
Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw’omwoyo gwange:
Kale mponya onnamye.
1738:17 Zab 6:5; 88:10, Mub 9:10Laba, olw’emirembe gyange kyennava mbalagalwa ennyo:
Naye ggwe olw’okwagala obulamu bwange obuwonyezza mu bunnya obuvundirwamu;
Kubanga osudde ebibi byange byonna ennyuma w’amabega go.
18Kubanga amagombe tegayinza kukutendereza, okufa tukuyinza kukusuuta:
Abo abakka mu bunnya tebayinza kusuubira mazima go.
1938:19 Ma 4:9, Zab 78:3,4Omulamu, omulamu ye alikutendereza nga nze bwe nkola leero
Kitaabwe alitegeeza abaana amazima go.
20Mukama yeeteeseteese okundokola:
Kyetunaavanga tuyimbira ennyimba zange mu nnanga
Ennaku zonna ez’obulamu bwaffe mu nnyumba ya Mukama.
21Era Isaaya yali ayogedde nti Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, era aliwona. 22Ne Keezeekiya yali ayogedde nti Kaluwa akabonero nga ndyambuka mu nnyumba ya Mukama?