
37
137:1-38 2 Bassek 19:1-37Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama. 2N’atuma Eriyakimu eyali omukulu w’ennyumba ne Sebuna omuwandiisi n’abakadde ab’oku bakabona, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nabbi mutabani wa Amozi. 337:3 Is 22:5, Kos 13:13Ne bamugamba nti Bw’atyo bw’ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalwa, so tewali maanyi ga kuzaala. 437:4 Is 1:9Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, kabaka w’e Bwasuli mukama we gw’atumye okuvuma Katonda omulamu, n’anenya ebigambo Mukama Katonda wo by’awulidde: kale yimusiza okusaba kwo ekitundu ekifisseewo. 5Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya. 6Isaaya n’abagamba nti Bwe mutyo bwe munaagamba mukama wammwe nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Totya bigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye. 737:7 Is 19:14; 37:38Laba, ndimuteekako omuzimu, naye aliwulira olugambo n’addayo mu nsi ye; era ndimusuula n’ekitala mu nsi ye ye.
8Awo Labusake n’addayo n’asanga kabaka w’e Bwasuli ng’alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nga yasitula e Lakisi. 937:9 Is 20:5N’awulira nga boogera ebya Tiraka kabaka w’e Kuusi, nti Atabadde okulwana naawe. Awo bwe yakiwulira n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’ayogera nti 1037:10 Is 36:15Bwe mutyo bwe muligamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nga mwogera nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli. 11Laba, owulidde bakabaka b’e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala: naawe oliwonyezebwa? 1237:12,13 Is 36:18,19Bakatonda ab’amawanga baagawonya, bakitange ge baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n’abaana ba Edeni abaabanga mu Terasali? 13Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefavayimu ow’e Keena ne Yiva? 14Keezeekiya n’atoola ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjululiza mu maaso ga Mukama. 15Keezeekiya ne yeegayirira Mukama ng’ayogera 1637:16 Kuv 25:22nti Ai Mukama ow’eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, wa bwakabaka bwonna obw’omu nsi; ggwe wakola eggulu n’ensi. 1737:17 Dan 9:18Tega okutu kwo, ai Mukama, owulire; zibula amaaso go, ai Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu, by’atumye okuvuma Katonda omulamu. 1837:18 Is 10:13,14Mazima, Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi yaabwe, 19ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20Kale nno kaakano, ai Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw’omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.
21Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ebya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 22kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku ye: Omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja akunyoomye era akugadizza; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe. 23Ani gw’ovumye gw’ovodde? era ani gw’oyimusirizzaako eddoboozi lyo n’olalama amaaso go waggulu? ku Mutukuvu wa Isiraeri. 2437:24 Is 8:7,8; 14:8Oyimye mu baddu bo okuvuma Mukama n’oyogera nti N’amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y’olusozi, ntuuse mu njuyi ez’omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n’enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky’ennimiro ye eŋŋimu. 25Nsimye era nnywedde amazzi, era ndikaliza emigga gyonna egy’e Misiri n’ebigere byange. 26Towuliranga bwe nnakikola edda ennyo ne nkibumba okuva ebiro eby’edda? kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w’ebibuga ebiriko enkomera obifuule ebifunvu eby’ebyagwa. 27Abaabituulangamu kyebaava babeera ab’amaanyi amatono, baatekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng’essubi ery’omu nnimiro era ng’omuddo omubisi, ng’omuddo oguli waggulu ku nnyumba, era ng’omusiri gw’eŋŋaano nga tennakula. 28Naye mmanyi bw’otuula era bw’ofuluma era bw’oyingira era bw’onneesalirako akajegere. 2937:29 Is 30:28, Am 4:2Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n’olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu. 30Era kano ke kaliba akabonero gy’oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw’okubiri ekyo kye gumera; ne mu mwaka ogw’okusatu musiganga mukungulanga musimbanga ensuku z’emizabbibu mulyanga ebibala byamu. 3137:31 Is 27:6N’ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emmizi wansi ne babala ebibala waggulu. 3237:32 Is 9:7Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifiseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: obuggya bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo. 33Mukama kyava ayogera ku kabaka w’e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n’engabo, so talikituumako kifunvu. 34Mu kkubo mwe yajjira omwo mw’aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw’ayogera Mukama. 3537:35 2 Bassek 20:6, Is 31:5Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze era ne ku bw’omuddu wange Dawudi.
3637:36 Is 14:25; 31:8Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abaasuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu. 37Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’agenda n’addayo, n’abeera e Nineeve. 38Awo olwatuuka bwe yali ng’asinziza mu kiggwa kya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amuddira mu bigere.