
35
1Olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti. 2Lirisukkiriza okusansula, lirisanyuka n’essanyu n’okuyimba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni: baliraba ekitiibwa kya Mukama, obulungi obungi obwa Katonda waffe.
335:3 Yob 4:3,4, Beb 12:12Munyweze emikono eminafu, mukakase n’amaviivi agajugumira. 4Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n’amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n’okuwalana eggwanga, n’empeera ya Katonda; alijja n’abalokola. 535:5,6 Is 32:3,4; 48:21, Mat 11:5, Yok 5:8,9; 9:6,7Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. 6Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba: kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n’emigga mu ddungu. 7N’omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n’ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi: mu kifo eky’ebibe mwe byagalamiranga, muliba omuddo n’essaalu n’ebitoogo. 835:8 Is 40:3; 52:1Era eribaayo oluguudo, n’ekkubo, era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali: abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu. 935:9 Leev 26:6Teribaayo mpologoma, so tekulirinnyako nsolo yonna ey’amaddu, tezirirabikayo; naye abaanunulibwa be baliritambuliramu: 1035:10 Is 51:11; 65:19n’aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n’essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe: balifuna essanyu n’okujaguza, n’okunakuwala n’okusinda kuliddukira ddala.