
34
1Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu: ensi ewulire n’okujjula kwayo; ettaka n’ebintu byonna ebirivaamu. 2Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n’ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna: abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa. 334:3 Yo 2:20Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n’ekivundu eky’emirambo gyabwe kiririnnya, n’ensozi zirisaanuuka olw’omusaayi gwabwe. 434:4 Yo 2:31, Mat 24:29, Kub 6:13,14N’eggye lyonna ery’omu ggulu liryabulukuka, n’eggulu lirizingibwa ng’omuzingo gw’empapula: n’eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng’akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng’akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini. 534:5 Is 63:1-6, Yer 49:7-22, Mal 1:2-4Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu: laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab’ekikolimo kyange, olw’omusango. 634:6 Zef 1:7Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kisavuwadde n’amasavu, n’omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi, n’amasavu ag’ensigo z’endiga ennume: kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n’okutta abangi mu nsi ya Edomu. 7N’embogo ziriserengeta wamu nazo, n’ente wamu ne ziseddume; n’ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n’enfuufu yaabwe erisavuwala n’amasavu. 834:8 Is 61:2Kubanga lwe lunaku olw’okuwalana eggwanga lya Mukama, omwaka ogw’okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni. 9N’emigga gyayo girifuuka bulimbo, n’enfuufu yaayo kibiriiti, n’ensi erifuuka bulimbo obwaka. 1034:10 Is 66:24, Kub 14:11; 19:3Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna: emirembe n’emirembe eneebeereranga awo ng’ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n’emirembe. 11Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n’ekiwugulu ne namuŋŋoona be banaatuulanga omwo: era aligireegako omugwa ogw’okwetabula, n’amayinja agatereeza ag’obutaliimu. 12Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo; n’abalangira baayo bonna baliba si kintu. 1334:13,14 Is 13:21,22; 32:13N’amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n’amatovu mu bigo byayo: era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya. 14N’ensolo enkambwe ez’omu ddungu zirisisinkana n’emisege, n’eya zigeye eriyitiriza ginnaayo; weewaawo, ennyonyi ey’ekiro erigwa eyo, ne yeerabira ekiwummulo. 15Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w’ekisiikirize kyalyo: weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne. 16Munoonye mu kitabo kya Mukama musome: tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n’omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza. 1734:17 Zab 78:55Era abikubidde obululu, n’omukono gwe gubigabidde n’omugwa: binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n’emirembe binaatuulanga omwo.