
33
133:1 Is 21:2, Kaab 2:8Zikusanze ggwe anyaga so tonyagibwanga; era alyazaamaanya, so tebakulyazaamaanyanga! Bw’olireka okunyaga, n’olyoka onyagibwa; era bw’olimalira ddala okulyazaamaanya, ne balyoka bakulyazaamaanya. 2Ai Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira: beera mukono gwabwe buli nkya, era obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku. 3Olw’eddoboozi ery’okuyoogaana amawanga gadduse: olw’okweyimusa ggwe amawanga gasaasaanye. 4N’omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng’akawuka bwe kakuŋŋaanya: ng’enzige bwe zigwa bwe baligugwako bwe batyo. 533:5 Zab 97:9Mukama agulumizibwa kubanga atuula waggulu: ajjuzizza Sayuuni omusango n’obutuukirivu. 633:6 Nge 1:7, Is 39:8Era walibaawo enkalakkalira mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n’okumanya okutya Mukama bwe bugagga bwe.
733:7 2 Bassek 18:37Laba, abazira baabwe bakaabira bweru: ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo amaziga. 833:8 Balam 5:6, 2 Bassek 18:14-17Enguudo zizise, omutambuze aggwaawo: amenye endagaano, anyoomye ebibuga, tassaayo mwoyo eri abantu. 9Ensi ewuubaala eyongobera: Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka: Saloni ali ng’eddungu; ne Basani ne Kalumeeri bawaatula. 1033:10 Zab 12:5Kaakano naagolokoka, bw’ayogera Mukama; kaakano neeyimusa; kaakano naagulumizibwa. 11Muliba mbuto za bisusunku, mulizaala ssubi: omukka gwammwe muliro ogulibookya. 12N’amawanga galiba ng’okwokya kw’ensimbi: ng’amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro.
13Muwulire, mmwe abali ewala, bye nkoze; nammwe abali okumpi mukkirize amaanyi gange. 1433:14 Is 66:15, Beb 12:29Abalina ebibi abali mu Sayuuni batidde; okukankana kugudde ku abo abatatya Katonda. Ani ku ffe alituula awamu n’omuliro ogwokya? ani ku ffe alituula awamu n’okwokya okutaliggwaawo? 1533:15 Zab 24:4; 119:27Oyo atambula n’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima; oyo anyooma amagooba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi; 1633:16 Is 30:23,25oyo ye alituula waggulu: ekifo kye eky’okwekuuma kiriba nkomera za mayinja: emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira. 1733:17 Is 6:5Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe: galiraba ensi eziyimirira ewala. 1833:18 2 Bassek 18:14Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa: ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo? ali ludda wa oyo eyabala ebigo? 1933:19 Ma 28:49,50, Is 28:11, Yer 5:15Toliraba ggwanga kkakali, eggwanga eririna enjogera enzibu gy’otoyinza kumanya; eririna olulimi olunnaggwanga lw’otoyinza kutegeera. 20Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky’embaga zaffe: amaaso go galiraba Yerusaalemi nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa, enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna, so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa. 2133:21 Zab 46:4,5Naye eyo Mukama alibeera naffe mu bukulu, ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo; omutaliyita lyato erivugibwa, so n’ekyombo ekinene tekirigendamu. 2233:22 1 Sam 12:12, Zek 9:9, Yak 4:12Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w’amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola. 23Emigwa gyo egisiba gisumulukuse; tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe, tebayinza kuwanika ttanga: awo ne bagereka ebintu eby’omunyago omunene; abawenyera baatwala omunyago. 24N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde: abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.