
3
13:1 Leev 26:26, Ez 4:16Kubanga, laba, Mukama, Mukama ow’eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n’ekyo kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna eky’emmere, n’ekibeesiguza kyonna eky’amazzi; 2omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omuzira; omulamuzi, ne nnabbi, n’omulaguzi, n’omukadde; 3omukulu ow’amakumi ataano n’ow’ekitiibwa n’ateesa ebigambo ne ffundi ow’amagezi n’omufumu ow’obukabakaba. 43:4 Mub 10:16Era ndireeta abaana okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga. 53:5 Mi 7:2,6Era abantu balijoogebwa, buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we: omuto aligirira ekyejo omukadde, n’omukopi aligirira ekyejo ow’ekitiibwa. 6Omuntu bw’alikwata muganda we mu nnyumba ya kitaawe, ng’ayogera nti Ggwe olina eby’okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, n’okubula kuno kubeere wansi w’omukono gwo: 7ku lunaku olwo aliyimusa eddoboozi lye, ng’ayogera nti Sijja kuba muwonya; kubanga mu nnyumba yange temuli mmere newakubadde eby’okwambala: temujja kunfuula mufuzi wa bantu. 83:8 Is 65:3Kubanga Yerusaalemi kizikiridde, ne Yuda agudde: kubanga olulimi lwabwe n’ebikolwa byabwe biwakanya Mukama, okusunguwaza amaaso ag’ekitiibwa kye. 9Ekifaananyi ky’obwenyi bwabwe kitegeeza nga gubasinze; era babuulira ekibi kyabwe nga Sodomu, tebakikisa. Zisanze obulamu bwabwe! kubanga beesasulidde bokka obubi. 10Mwogere ku mutuukirivu nti anaabanga bulungi: kubanga banaalyanga ebibala by’ebikolwa byabwe. 113:11 Mub 8:13Zisanze omubi! anaabanga bubi: kubanga anaaweebwanga empeera y’engalo ze. 12Abantu bange abaana abato be babajooga, era abakazi be babafuga. Woowe abantu bange, ababakulembera babakyamya, era bazikiriza ekkubo lyammwe eritambulirwamu. 133:13 Kos 4:1Mukama ayimirira okuwoza, era ayimirira okusala omusango gw’amawanga. 143:14 Zab 14:4, Am 3:10Mukama alisala omusango gw’abakadde b’abantu be n’abalangira baabwe: Mmwe mwaliira ddala olusuku lw’emizabbibu; omunyago gw’omwavu guli mu nnyumba zammwe: 153:15 Zab 94:5, Mi 3:3mubadde ki okubetentanga abantu bange, n’okusanga amaaso g’abaavu? bw’ayogera Mukama, Mukama ow’eggye.
16Era nate Mukama yayogera nti Kubanga abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo era nga balina amaaso ag’obukaba, nga batambula era nga bakumba bwe bagenda, era nga bavuza ebigere byabwe: 17Mukama kyaliva alwaza ebikakampa obwezinge bw’omutwe gw’abawala ba Sayuuni, Mukama n’abikkula ku nsonyi zaabwe. 18Ku lunaku olwo Mukama aliggyako obuyonjo bw’amasamba gaabwe, n’enkundulu zaabwe, n’ebifaanana ng’emyezi; 19n’emijugo, n’emisagga, n’engoye ez’oku maaso; 20ebiremba, n’obudangadi, n’enneebagyo, n’obucupa obw’akaloosa, n’ensiriba; 213:21 Lub 24:47empeta n’empeta ez’omu nnyindo; 22engoye ez’amabala, n’eminagiro, n’essuuka, n’ensawo; 23endabirwamu, ne bafuta, n’ebiremba, n’ezibikka ku mitwe. 243:24 Es 2:12, Is 22:12Awo olulituuka awaali eby’akaloosa walibaawo ekivundu; n’awaali olwebagyo mugwa; n’awaali enviiri ensunsule obulungi kiwalaata; n’awaali ekizibawo kwesiba kibukutu: awaali obuyonjo kwokebwa. 25Abasajja bo ekitala kiribatta, n’abazira bo balifiira mu ntalo. 263:26 Yer 14:2, Kung 1:4; 2:10N’enzigi ze zirikaaba ziriwuubaala; era ye aliba munaku, alituula ku ttaka.