
27
127:1 Zab 74:13,14, Is 51:9, Ez 29:3Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n’ekitala kye eky’obwogi ekinene eky’amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja.
227:2 Is 5:7Ku lunaku luli Olusuku olw’emizabbibu olw’omwenge muliruyimbira. 3Nze Mukama ndukuuma; naalufukiriranga amazzi buli kaseera: ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, naalukuumanga emisana n’ekiro. 427:4 2 Sam 23:6,7, Is 10:17Ekiruyi tekiri mu nze: singa katazamiti n’amaggwa gannumbye mu lutalo! nandigatabadde, nandigookedde wamu. 5Oba akwate ku maanyi gange, atabagane nange; weewaawo, atabagane nange. 627:6 Is 37:31, Kos 14:5,6Mu biro ebiribaawo Yakobo alisimba emmizi; Isiraeri alyanya alimulisa: era balijjuza ensi yonna ebibala.
727:7 Is 37:18,36-38, Kos 6:1,2Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba? oba attiddwa ng’abo bwe battibwa be yatta? 827:8 Yer 18:17Bw’omusindika okugenda owakana naye mu kigero; amujjuludde n’okuwuuma kwe okw’amaanyi ku lunaku olw’embuyaga eziva ebuvanjuba. 927:9 Ma 16:21, 2 Bassek 18:4Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n’ekyo, era ekyo kye kibala kyonna eky’okuggyako ekibi kye; bw’afuula amayinja gonna ag’ekyoto ng’ebisibosibo ebisekulwasekulwa, Baasera n’ebifaananyi by’enjuba n’okuyimuka ne bitayimuka nate. 1027:10 Is 17:2,9Kubanga ekibuga ekyabangako enkomera kifulukwa, matongo agalekeddwawo, ng’eddungu: awo ennyana w’eririira, era awo w’erigalamira n’erya amatabi gaamu. 1127:11,12 Ma 32:28Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa; abakazi balijja ne bagookya: kubanga be bantu abatalina magezi; eyabakola kyaliva alema okubasaasira, era eyababumba talibalaga kisa.
1227:12 Ma 15:18Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikuŋŋunta okuva ku ntaba ez’Omugga okutuusa ku mugga ogw’e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri.
1327:13 Leev 25:9, Is 2:2; 11:11, Mat 24:31, Kub 11:15Awo olulituuka ku lunaku luli ekkondeere eddene lirifuuyibwa; era balijja abo abaali beeteeseteese okuzikirira mu nsi y’e Bwasuli n’abo abaali bagobeddwa mu nsi y’e Misiri; era balisinziza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.