
26
126:1 Is 60:18Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti Tulina ekibuga eky’amaanyi; obulokozi bw’alissaawo okuba bbugwe n’enkomera. 226:2 Zab 118:19Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire. 3Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe. 4Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga mu Mukama Yakuwa mwe muli olwazi alutaliggwaawo. 526:5 Is 25:12Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu, ekibuga ekigulumivu: akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu. 6Ekigere kirikirinnyirira; ebigere by’omwavu, n’ebisinde by’oyo atalina kintu. 7Ekkubo ery’omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw’omutuukirivu. 826:8 Kuv 3:15Weewaawo, mu kkubo ery’emisango gyo, ai Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n’eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw’obulamu bwaffe. 926:9 2 Byom 33:11,12, Zab 63:6, Lu 3:1Nakwoyanga n’obulamu bwange ekiro; weewaawo, nakeeranga mu makya okukunoonya n’omwoyo gwange munda yange: kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, abatuula ku ttaka lwe bayiga obutuukirivu. 1026:10 Zab 73:3-11Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey’obugolokofu mw’anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.
1126:11 Zab 21:9, Is 5:12, Mi 5:9Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebalaba: naye baliraba obunyiikivu bwo olw’abantu ne bakwatibwa ensonyi; weewaawo, omuliro gulyokya abalabe bo. 12Mukama, oliragira emirembe gye tuli: kubanga n’okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna. 1326:13 2 Bassek 18:4-6, Is 2:8Ai Mukama Katonda waffe, abaami abalala awali ggwe baatufuganga; naye ggwe tunaayatulanga erinnya lyo wekka. 14Bafudde, tebaliba balamu; bazikiridde, tebalizuukira: kyewava obajjira n’obasangulawo n’obuza okujjukirwa kwabwe kwonna. 1526:15 Is 9:3; 54:2,3Wayaza eggwanga, ai Mukama, wayaza eggwanga; ogulumizibwa: ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.
1626:16 Kos 5:15Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo. 1726:17,18 Is 13:8Ng’omukazi ali olubuto, ebiro eby’okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw’alumwa n’akaaba ng’abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ai Mukama. 18Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n’abatuula mu nsi tebagudde. 1926:19 Ez 37:12, Dan 12:2, Kos 13:14Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng’omusulo ogw’oku middo, n’ettaka liriwandula abafu.
2026:20 Is 10:25Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okunyiiga lwe kuliggwaawo. 2126:21 Mi 1:3Kubanga, laba, Mukama ajja ng’afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw’obutali butuukirivu bwabwe: n’ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo, so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.