
25
125:1 Kuv 15:2, Zab 107:31,32Ai Mukama, ggwe Katonda wange; naakugulumizanga, naatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby’ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n’amazima. 225:2 Is 17:1, Yer 51:37Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery’abagenyi olifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna. 3Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa, ekibuga eky’amawanga ag’entiisa kirikutya. 425:4,5 Is 4:6; 32:2, Nak 1:7Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina kintu ng’alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw’ab’entiisa bwe kuba nga kibuyaga akunta ku kisenge. 5Ng’olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw’olikkakkanya bw’otyo oluyoogaano olw’abagenyi; ng’olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n’ekisiikirize ky’ekire, oluyimba olw’ab’entiisa lulikkakkanyizibwa. 625:6 Zab 63:5, Is 2:2,3, Kuv 3:15Era ku lusozi luno Mukama ow’eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey’ebya ssava, embaga ey’omwenge omuka, ey’ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey’omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi. 725:7 Is 22:8, 2 Kol 3:15Era alimirira ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n’eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna. 825:8 Is 1:20; 30:19, Kos 13:14, 1 Kol 15:54, Kub 7:17Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n’ekivume eky’abantu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.
925:9 Lub 49:18, Zab 9:14Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijaguliza obulokozi bwe. 1025:10 Yob 40:12, Is 15:1Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng’ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag’olubungo. 11Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng’awuga bw’ayanjuluza engalo ze okuwuga: era alikkakkanya amalala ge wamu n’enkwe ez’engalo ze. 1225:12 Is 26:5N’ekigo eky’olukomera oluwanvu olwa bbugwe wo akikkakkanyizza, akissizza wansi, n’akituusa ku ttaka okutuuka ne mu nfuufu.