
24
1Laba, Mukama ensi agimalamu byonna, era agizisa, era agivuunika, era asaasaanyiza ddala abagituulamu. 224:2 Ez 7:12, Kos 4:9Era olulituuka ng’abantu bwe baliba, bw’atyo kabona bw’aliba; ng’omuddu bw’aliba, bw’atyo mukama we bw’aliba; ng’omuzaana bw’aliba, bw’atyo mugole we bw’aliba; ng’omuguzi bw’aliba, bw’atyo omutunzi bw’aliba; ng’awola bw’aliba, bw’atyo eyeewola bw’aliba; ng’aweebwa amagoba bw’aliba, bw’atyo amuwa amagoba bw’aliba. 324:3 Is 1:20Ensi erimalirwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala; kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo. 424:4 Kos 4:3Ensi ewuubaala era esaanuuka, ettaka liggwaamu amaanyi era lisaanuuka, abantu abagulumivu ab’ensi baggwaamu amaanyi. 524:5 Leev 26:15, Kubal 35:33, Is 2:6,8Era ensi esiigiddwako empitambi wansi w’abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo. 624:6 Dan 9:11, Zek 5:3,4, Mal 2:2Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n’abo abagituulamu balabise nga gubasinze: abatuula mu nsi kyebava bookebwa, abantu ne basigala batono. 7Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe. 824:8 Yer 7:34Ekinyumu eky’ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw’abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery’ennanga likoma. 9Tebalinywa mwenge nga bayimba; ekitamiiza kirikaayirira abo abakinywa. 10Ekibuga eky’okwetabula kimenyesemenyese: buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu. 1124:11 Yo 1:5,12Waliwo okukaaba mu nguudo olw’omwenge; essanyu lyonna lizikizibwa, ekinyumu eky’ensi kigenze. 12Mu kibuga musigadde okuzika, ne wankaaki akubiddwa n’okuzikirira. 1324:13 Is 17:6Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde. 14Bano baliyimusa eddoboozi lyabwe, balyogerera waggulu, olw’obukulu bwa Mukama baleekaana nga bayima ku nnyanja. 1524:15 Is 45:6Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby’omu nnyanja.
1624:16 Is 21:2; 26:2Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y’ensi, ekitiibwa eri abatuukirivu. Naye ne njogera nti Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo. 1724:17,18 Lub 7:11, Zab 18:7, Yer 48:43,44Entiisa n’obunnya n’omutego biri ku ggwe, ggwe atuula mu nsi. 18Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery’entiisa aligwa mu bunnya; n’oyo alinnya okuva mu bunnya wakati omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n’emisingi gy’ensi ginyeenya. 19Ensi emenyekedde ddala, ensi esaanuukidde ddala, ensi ejjulukuse nnyo. 2024:20 Is 24:5,6; 29:9Ensi eritagatta ng’omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng’ensiisira; n’okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n’etegolokoka nate.
2124:21 Zab 76:12, Is 10:12Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alibonereza eggye ery’abagulumivu waggulu, ne bakabaka ab’ensi ku nsi. 2224:22 Mi 4:11,12Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng’abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era ennaku nnyingi nga ziyiseewo balijjirwa. 2324:23 Is 13:10, Mi 4:7Kale omwezi, gulikwatibwa ensonyi, n’enjuba eriswala; kubanga Mukama ow’eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi ne mu maaso g’abakadde be n’ekitiibwa.