
22
1Omugugu ogw’ekiwonvu eky’okwolesebwa.
Obadde otya kaakano, n’okulinnya n’olinnyira ddala waggulu ku nnyumba? 2Ggwe ajjudde okuleekaana, ekibuga eky’oluyoogaano, ekibuga eky’essanyu; ababo abattibwa tebattibwa na kitala, so tebafiiridde mu ntalo. 3Abakufuga bonna baddukira wamu, baasibibwa abalasi: bonna abaasangibwa ku babo baasibirwa wamu, baddukira wala. 422:4 Yer 9:1Kyennava njogera nti Mukyuse amaaso gammwe obutandaba, naakaba nnyo amaziga; temutegana kunsanyusa olw’okunyagibwa kw’omuwala w’abantu bange. 522:5 Is 2:12Kubanga lwe lunaku olw’olukeŋŋentererwako era olw’okulinnyirirwako, era olw’okubuusizabuusizaako, oluva eri Mukama, Mukama ow’eggye, mu kiwonvu eky’okwolesebwa; okumenyamenya bbugwe, n’okukaaba eri ensozi. 6Eramu n’ayambalira omufuko, wamu n’amagaali ag’abasajja n’abeebagala embalaasi; Kiira n’asabuukulula engabo. 7Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n’abeebagala embalaasi, ne batalira mu mulyango. 822:8 1 Bassek 7:2; 10:17N’aggyawo ekibikka ku Yuda; n’otunuulira ku lunaku luli ebyokulwanyisa ebyali mu nnyumba ey’omu kibira. 922:9 2 Byom 32:5, Nek 3:16Ne mulaba ebituli ebyawagulwa mu kibuga kya Dawudi, nga bingi: ne mukuŋŋaanya amazzi ag’ekidiba ekya wansi. 10Ne mubala ennyumba ez’omu Yerusaalemi, ne mumenyaamenya ennyumba okunyweza bbugwe. 1122:11 2 Bassek 20:20; 25:4, 2 Byom 32:3,4, Is 5:12Era ne musimira ekidiba amazzi ag’ekidiba eky’edda wakati wa babbugwe bombi: naye ne mutatunuulira oyo eyagira kino, so temwalowooza oyo eyakikola edda ennyo. 12Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow’eggye, n’ayita abantu okukaaba amaziga n’okuwuubaala n’okumwa ebiwalaata n’okwesiba ebibukutu: 1322:13 Is 56:12, 1 Kol 15:32era, laba, ssanyu na kujaguza, kutta nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge: tulye tunywe kubanga enkya tunaafa. 1422:14 1 Sam 3:14Mukama ow’eggye ne yeebikkulira mu matu gange nti Mazima obutali butuukirivu buno tebulirongoosebwa okubavaako okutuusa lwe mulifa, bw’ayogera Mukama, Mukama ow’eggye.
1522:15 2 Bassek 18:18,26,37; 19:2, Is 36:3Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Mukama ow’eggye, nti Weegendere eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w’ennyumba, oyogere nti 1622:16 Mat 27:60Okola ki wano? era ani gw’olina wano n’okwebajjira ne weebajjira wano entaana? ng’omubajjira entaana waggulu, nga yeetemera ennyumba mu lwazi! 17Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi ng’omusajja ow’amaanyi; weewaawo, alikusabikira ddala. 1822:18 Is 36:9Talirema kukyuka n’akukasuka ng’omupiira mu nsi engazi; eyo gy’olifiira, era eyo amagaali ag’ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z’ennyumba ya mukama wo. 19Nange ndikuggya mu bwami bwo, era alikussa okuva mu bukulu bwo. 2022:20 2 Bassek 18:18Awo olulituuka ku lunaku luli ndiyita omuddu wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya: 21era ndimwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n’olukoba lwo, era ndimuteresa okufuga kwo mu mukono gwe: era aliba kitaabwe eri abo abatuula mu Yerusaalemi n’eri ennyumba ya Yuda. 2222:22 Kub 3:7N’ekisumuluzo eky’ennyumba ya Dawudi ndikiteeka ku kibegabega kye; era aliggulawo so tewaliba aggalawo; era aliggalawo so tewaliba aggulawo. 2322:23 Ezer 9:8, Mub 12:11Era ndimukomerera ng’enninga mu kifo ekinywevu; era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24Era balimuwanikako ekitiibwa kyonna eky’ennyumba ya kitaawe, ab’enda n’ezzadde, buli kintu ekitono, okuva ku bukompe okutuuka ku bita byonna. 25Ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama ow’eggye, enninga eyakomererwa mu kifo ekinywevu erisimbuka; era eritemebwawo n’egwa, n’omugugu ogwali ku yo gulisalibwako; kubanga Mukama akyogedde.