
21
121:1 Zek 9:14Omugugu ogw’eddungu ery’ennyanja.
Nga kibuyaga ow’omu bukiika obwa ddyo bw’ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey’entiisa. 221:2 Is 13:17; 24:16; 33:1Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n’omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu: zingiza, ggwe Obumeedi; okussa ebikkowe kwayo kwonna nkukomezza. 3Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng’obulumi bw’omukazi alumwa okuzaala: nnyoleddwa n’okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋentereddwa n’okuyinza ne ssiyinza kulaba. 421:4 Ma 28:67Omutima gwange guwejjawejja, okwesisiwala kunkanze: ekiro kye nnali neegomba kifuuse gye ndi kukankana. 521:5 Yer 51:39Bategeka emmeeza, bassaawo abakuumi, balya, banywa: mugolokoke, mmwe abakulu, musiige amafuta ku ngabo. 6Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky’anaalaba: 7era bw’alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky’endogoyi, ekibiina ky’eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi. 821:8 Kaab 2:1N’akaaba ng’empologoma nti Ai Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi muggalire. 921:9 Yer 50:2; 51:8, Kub 14:8; 18:2Era, laba, wajja ekitongole ky’abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu. N’addamu n’ayogera nti Babulooni kigudde, kigudde; n’ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bimenyese okutuuka ku ttaka. 1021:10 Yer 51:33, Am 1:3Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey’omu gguuliro lyange: ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow’eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.
1121:11 Lub 36:8, Ez 35:2Omugugu gwa Duuma.
Waliwo ampita ng’ayima ku Seyiri nti Omukuumi, eby’ekiro bitya? Omukuumi, eby’ekiro bitya? 12Omukuumi n’ayogera nti Enkya ejja, era n’ekiro: bwe mwagala okubuuza, mubuuze: mukyuke mujje.
1321:13 Lub 37:25Omugugu oguli ku Buwalabu.
Mu kibira mu Buwalabu mwe mulisula, mmwe ebibiina ebya Abadedeni ebitambula. 14Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetera amazzi; abatuula mu nsi ey’e Teema baasisinkana abadduse n’emmere yaabwe. 15Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n’omutego omunaanule, n’obubi bw’entalo. 1621:16 Is 60:7, Ez 27:21Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti Omwaka nga tegunnaggwaako, ng’emyaka egy’omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo: 1721:17 Is 1:20n’abalifikkawo ku muwendo gw’abalasi, abasajja ab’amaanyi ab’oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.