
2
1Ekigambo Isaaya omwana wa Amozi kye yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
22:2-4 Mi 4:1-32:2 Is 56:7Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi olw’ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y’ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo. 32:3 2:3 Zek 8:20-23, Luk 24:47Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze: kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 42:4 Zab 72:7, Zek 9:10Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.
5Mmwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu musana gwa Mukama. 62:6 Ma 18:14, 2 Bassek 1:2; 16:7,8,11,12Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakubagana mu ngalo n’abaana b’ab’amawanga. 7Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n’ezaabu, so n’obugagga bwabwe tebuliiko gye bukoma; era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n’amagaali gaabwe tegaliiko gye gakoma. 82:8 Yer 2:28Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe zaakola. 9Omukopi n’avuunama, n’omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa. 102:10 2 Bas 1:9Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe. 11Okulalambala kw’abantu kuliwanulibwa, n’amalala g’abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 122:12 Yob 40:11,12Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow’eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n’eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa: 132:13 Zek 11:1,2n’eri enfugo zonna eza Lebanooni, empanvu ezigulumizibwa, n’eri emivule gyonna egya Basani; 14n’eri ensozi zonna empanvu, n’eri obusozi bwonna obugulumizibwa; 15n’eri buli kigo ekiwanvu, n’eri buli bbugwe aliko ekkomera; 162:16 1 Bassek 10:22n’eri ebyombo byonna eby’e Talusiisi, n’eri ebifaananyi byonna eby’okwesiima. 17Era okugulumizibwa kw’abantu kulikutamizibwa, n’amalala g’abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 18N’ebifaananyi biriggweerawo ddala. 192:19 Kag 2:6Era abantu baligenda mu mpuku ez’amayinja, ne mu bunnya obw’ettaka, okuva mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe, bw’aligolokoka okukankanya ensi n’amaanyi. 202:20 Is 30:22; 31:7Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby’effeeza n’ebifaananyi bye eby’ezaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n’eri ebinyira; 21bagende mu mpuku ez’amayinja, ne mu nkonko ez’amayinja amaatifu, okuva mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe, bw’aligolokoka okukankanya ensi n’amaanyi. 222:22 Lub 2:7, Zab 14:4, Am 3:10Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe: kubanga ekinaaba kibalowoozesa kiki?