
17
117:1 2 Bassek 16:9, Yer 49:23-27, Am 1:3-5Omugugu gwa Ddamasiko. Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga, era kiriba kifunvu eky’ebyagwa. 2Ebibuga bya Aloweri birekeddwawo: biriba bya mbuzi, ezinaagalamiranga so tewaabenga anaaziikanga. 317:3 1 Sam 4:21, Is 7:16; 8:4Era ekigo kirikoma mu Efulayimu, n’obwakabaka mu Ddamasiko, n’abalifikkawo ku Busuuli; baliba ng’ekitiibwa ky’abaana ba Isiraeri, bw’ayogera Mukama ow’eggye.
417:4 Is 10:16Awo olulituuka ku lunaku luli ekitiibwa kya Yakobo kirikendeezebwa, n’obugevvu bw’omubiri gwe bulikogga. 5Era kiriba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano emera n’omukono gwe ne gukungula ebirimba; weewaawo, kiriba ng’omuntu bw’alonda ebirimba mu kiwonvu kya Lefayimu. 617:6 Is 24:13Naye mulisigalamu ebirondebwa, ng’okukubibwa kw’omuzeyituuni bwe kubeera, ebibala ebibiri oba bisatu waggulu ku busongezo obukomererayo, ebina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu, bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri. 717:7 2 Byom 30:11, Kos 5:15, Mi 7:7Ku lunaku luli omuntu alitunuulira Omutonzi we, n’amaaso ge galikyukira Omutukuvu owa Isiraeri. 817:8,9 Is 27:9,10, Mi 5:13,14So talitunuulira byoto, omulimu gw’emikono gye, so talikyukira ekyo engalo ze kye zaakola, oba Baasera oba ebifaananyi by’enjuba. 9Ku lunaku luli ebibuga bye eby’amaanyi biriba ng’ebifulukwa mu kibira ne ku ntikko y’olusozi, ebyaviibwamu mu maaso g’abaana ba Isiraeri: era biriba nsiko. 1017:10 Zab 106:21Kubanga weerabidde Katonda ow’obulokozi bwo, so tojjukidde lwazi lwa maanyi go; kyova osimbamu ebisimbe eby’okusanyusa, n’osigamu ebimera ebigenyi: 11ku lunaku lw’osimbirako ossaako olukomera, era enkya omerusa ensigo zo: naye ebikungulwa biddukira ku lunaku olw’okunakuwaliramu era olw’okukungubagiramu.
12Woowe, oluyoogaano lw’amawanga amangi, agawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja; n’okuwulukuka kw’amawanga agawulukuka ng’okuwulukuka kw’amazzi ag’amaanyi! 1317:13,14 Zab 1:4; 9:5; 83:13, Nge 22:23Amawanga galiwulukuka ng’okuwulukuka kw’amazzi amangi naye alibanenya, nabo baliddukira wala, era baligobebwa ng’ebisusunku eby’oku nsozi mu maaso g’empewo, era ng’enfuufu ey’akazimu mu mberi ya kibuyaga. 14Akawungeezi, laba, ntiisa; era obudde nga tebunnakya tebaliiwo. Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga, era ye mpeera y’abo abatukwakwabira.