
15
115:1 Yer 48:1-47Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo; kubanga mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo. 2Ayambuse e Bayisi ne Diboni, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga: Mowaabu awowogganira Nebo ne Medeba: ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa. 3Beesibira ebibukutu mu nguudo zaabwe: waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu awowoggana, ng’akaaba nnyo amaziga. 4Ne Kesuboni alira, ne Ereyale; eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi: basserikale ba Mowaabu kyebava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye. 5Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya: kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu okukaaba okw’okuzikirira. 6Kubanga amazzi ag’e Nimulimu galirekebwawo: kubanga omuddo guwotokedde ddala, omuddo omugonvu guggwaawo, tewali kintu kimera. 7Ebintu ebingi bye bafunye n’ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw’enzingu. 8Kubanga okukaaba kwetoolodde ensalo za Mowaabu; okuwowoggana kwakwo kutuuse e Yegulayimu, n’okuwowoggana kwakwo kutuuse e Beererimu. 9Kubanga amazzi ag’e Dimoni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Dimoni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi.