
14
114:1 2 Byom 36:22,23, Zab 102:13, Zek 1:17; 8:22,23Kubanga Mukama alisaasira Yakobo, era, bw’alimala, n’alonda Isiraeri, n’abateeka mu nsi yaabwe bo: n’omugenyi alyegatta nabo, era balyetaba n’ennyumba ya Yakobo. 214:2 Is 49:22; 60:14; 61:5N’amawanga balibatwala, ne babaleeta mu kifo kyabwe: n’ennyumba ya Isiraeri baliba nabo mu nsi ya Mukama okuba abaddu n’abazaana: era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga.
3Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw’alikuweerako okuwummula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza, 414:4 Is 13:9, Yer 51:13awo oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti Omujoozi ng’aweddewo! ekibuga ekya zaabu nga kiweddewo! 514:5 Is 9:4Mukama amenye omuggo ogw’ababi, omuggo ogw’obwakabaka ogw’abo abafuga; 6ogwakubanga amawanga n’obusungu olutata, ogwafuganga amawanga n’ekiruyi, ne guyigganyanga ne gutaziyizibwa muntu yenna. 714:7 Is 55:12Ensi yonna ewummudde, era eteredde: babaguka okuyimba. 814:8 14:8 Is 37:24, Ez 31:16Weewaawo, enfugo zikusanyukira, n’emivule egy’oku Lebanooni, nga gyogera nti Kasookedde ogalamizibwa, tekulinnyanga ku ffe atutema. 914:9,10 Ez 32:21Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng’ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab’ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab’amawanga okuva ku ntebe zaabwe. 10Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe? ofaanaanyizibwa nga ffe? 11Ekitiibwa kyo kissibwa emagombe, n’eddoboozi ly’ennanga zo: envunyu zaaliiriddwa wansi wo, era envunyu zikubisseeko. 12Ng’ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeeye ey’enkya, omwana w’enkya! ng’otemeddwa okutuuka ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! 1314:13 Yer 51:53, Dan 8:10, Mat 11:23N’oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw’ekibiina, ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiika obwa kkono: 1414:14 2 Bas 2:4ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo. 1514:15 Ez 32:23, Mat 11:23Naye olissibwa emagombe, ku njuyi ez’enkomerero ez’obunnya. 16Abo abanaakulabanga banaakukeberanga, banaakulowoozanga, nga boogera nti Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka: 1714:17 Yer 50:33Eyazisanga ensi yonna, n’asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe be okudda ewaabwe? 18Bakabaka bonna ab’amawanga, bonna bwe benkana, beebakira mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye. 19Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng’ettabi erikyayibwa, ng’oyambadde abattibwa, abafumitibwa n’ekitala, abakka mu mayinja ag’obunnya; ng’omulambo ogulinnyirirwa n’ebigere. 2014:20 Zab 21:10Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n’otta abantu bo; ezzadde ly’abo abakola obubi teriryogerwako ennaku zonna. 2114:21 Kuv 20:5Mutegekere abaana be okuttibwa olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe; baleme okugolokoka, ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga. 2214:22 Yob 18:19, Yer 51:62Nange ndibagolokokerako, bw’ayogera Mukama ow’eggye, ne mpemmenta mu Babulooni erinnya n’abalifikkawo, n’omwana n’omuzzukulu, bw’ayogera Mukama. 2314:23 Is 34:11Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n’ebidiba eby’amazzi: era ndikyera n’olweyo olw’okuzikiriza, bw’ayogera Mukama ow’eggye.
24Mukama ow’eggye alayidde, ng’ayogera nti Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo; 2514:25 Is 10:27ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyira n’ebigere ku nsozi zange: kale ekikoligo kye kiribavaako, n’omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe. 26Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna: era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna. 2714:27 Nge 19:21, Yer 4:28, Dan 4:35Kubanga Mukama ow’eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n’omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?
2814:28 2 Bassek 16:20Mu mwaka kabaka Akkazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno.
29Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba: kubanga mu kikolo ky’omusota muliva essalambwa, n’ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka. 30N’ababereberye ab’abaavu balirya, n’abatalina bintu baligalamira mirembe: era nditta ekikolo kyo n’enjala, n’ababo abalifikkawo balittibwa. 3114:31 Is 20:1Wowoggana, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuse, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna; kubanga mu bukiika obwa kkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa. 3214:32 Is 28:16, Zef 3:12Kale balyanukulwa batya ababaka ab’eggwanga? Nti Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira.