
12
1Era ku lunaku luli olyogera nti Naakwebaza, ai Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bukyuse, era onsanyusa. 212:2 Kuv 15:2, Zab 118:14Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga ne ssitya: kubanga Mukama Yakuwa ge maanyi gange n’oluyimba; era ye afuuse obulokozi bwange. 312:3 Yok 4:14Kyemunaavanga musenanga n’essanyu amazzi mu nzizi ez’obulokozi. 412:4 Zab 105:1; 145:4,6; 148:13Era ku lunaku luli mulyogera nti Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe. 5Mumuyimbire Mukama; kubanga akoze eby’ekitiibwa: ekyo kimanyibwe mu nsi yonna. 612:6 Is 1:4, Kubal 11:9Yogerera waggulu oleekaane, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.