
8
18:1 Ma 28:49Teeka ekkondeere ku mumwa gwo. Ng’empungu bw’atyo bw’ajja okulumba ennyumba ya Mukama: kubanga basobezza endagaano ne boonoona amateeka gange. 28:2 Mat 7:21Balinkaabira nti Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi. 3Isiraeri asudde ekirungi: omulabe alibayigganya. 48:4 2 Byom 13:5Bataddewo bakabaka naye si ku bwange; balonze abakungu nange nga sikimanyi: beekoledde ebifaananyi ne ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe balyoke bamalibwewo. 58:5 1 Bassek 12:28, Kos 10:5,6Asudde ennyana yo, ai Samaliya; obusungu bwange bubaakiddeko: ebiro biryenkana wa okutuusa lwe baliba n’obutayonoona? 68:6 Mi 1:6,7Kubanga n’ekyo kivudde mu Isiraeri; omukozi ye yakikola, so si Katonda n’akatono: weewaawo, ennyana ya Samaliya erimenyekamenyeka. 78:7 Kos 7:9; 10:13, Bag 6:8Kubanga basiga embuyaga, era balikungula embuyaga ez’akazimu: talina ŋŋaano emera; ekiti tekiribala mmere; n’okubala bwe kiriba kibaze, bannaggwanga baligiriira ddala. 88:8 2 Bassek 17:6Isiraeri aliiriddwa ddala: kaakano bali mu mawanga ng’ekibya ekitaliiko bwe kisanyusa. 98:9 Yer 2:24, Kos 5:13Kubanga bambuse eri Obwasuli ng’entulege eri emu yokka: Efulayimu aguliridde abaganzi. 108:10 Ez 26:7Weewaawo, newakubadde nga bagulirira mu mawanga, kaakano naabakuŋŋaanya; era batanudde okukendeera olw’omugugu gwa kabaka w’abalangira. 11Kubanga Efulayimu ayongedde ebyoto okuleeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy’ali eky’okuleeta okwonoona. 128:12 Ma 4:6,8Newakubadde nga muwandiikira amateeka gange mu biragiro kakumi, biyitibwa kintu kinnaggwanga. 138:13 Ma 28:68, Yer 7:21, Kos 9:9, Am 8:7Ssaddaaka ez’ebyange ebiweebwayo, bawaayo ennyama okuba ssaddaaka ne bagirya; naye Mukama tabakkiriza: kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe n’abonereza olw’ebibi byabwe; balidda mu Misiri. 148:14 Is 17:7, Am 2:5; 5:11Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, n’azimba amayumba; era Yuda ayongedde ebibuga ebiriko enkomera: naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.