
7
17:1 Yer 23:13Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n’obubi bwa Samaliya; kubanga bakola eby’obulimba: n’omubbi ayingira munda, n’ekibiina eky’abatemu banyagira ebweru. 27:2 Nge 5:22So tebalowooza mu mitima gyabwe nga nze njijukira obubi bwabwe bwonna: kaakano ebikolwa byabwe bo bibazingizizza; biri mu maaso gange. 37:3 Bar 1:32Basanyusa kabaka n’obubi bwabwe, n’abakungu n’eby’obulimba byabwe. 4Bonna benzi; baliŋŋanga akabiga akakumibwa omwoki w’emigaati; alekera awo okuseesa omuliro ng’amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka. 5Ku lunaku lwa kabaka waffe abakungu beerwaza n’eddalu ery’omwenge: yagolola omukono gwe wamu n’abanyoomi. 6Kubanga bategese omutima gwabwe ng’akabiga, nga bateega: obusungu bwabwe bwebaka ne bukeesa obudde; enkya bwaka ng’omuliro ogwaka. 77:7 2 Bassek 15:10,14,25,30, Kos 8:4Bonna babugumye ng’akabiga, ne balya abalamuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde: tewali ku bo ankaabira. 87:8 Zab 106:35Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu mugaati ogutakyusibwa. 97:9 Yer 2:24, Kos 5:13Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi: weewaawo, atobese envi, so tamanyi. 107:10 Ez 26:7Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa gy’ali mu maaso ge: era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo. 11Era Efulayimu aliŋŋanga ejjiba essirusiru eritalina magezi: bakaabira Misiri, bagenda eri Obwasuli. 127:12 Ma 4:6,8Bwe baligenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga: ndibakangavvula ng’ekkuŋŋaaniro lyabwe bwe baawuliranga. 137:13 Ma 28:68, Yer 7:21, Kos 9:9, Am 8:7Zibasanze! kubanga bawabye okunvaako; okuzikirira kubatuukeko! kubanga bansobezza: newakubadde nga njagala okubanunula, era naye banjogeddeko eby’obulimba. 14So tebankaabidde n’omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe: bakuŋŋaanira eŋŋaano n’omwenge, banjeemera. 157:15 Kos 11:3Newakubadde nga nayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi. 167:16 Zab 78:57, Kos 9:3Bakomawo naye si eri oyo ali waggulu; bali ng’omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n’ekitala olw’okulaluka kw’olulimi lwabwe: kuno kwe kuliba okusekererwa kwabwe mu nsi y’e Misiri.