
6
16:1 Is 30:26, Kos 14:1Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga. 26:2 Zab 71:20, Luk 24:27,44Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw’okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge. 36:3 Kos 4:6; 14:5, Yo 2:23, Mi 5:2Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng’enkya: era alijja gye tuli ng’enkuba, ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.
46:4 Yer 2:2, Kos 11:8; 13:3Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky’enkya era ng’omusulo oguggwaako nga bukyali. 56:5 Yer 23:29, Beb 4:12Kyennavanga mbatemya bannabbi; nnabassanga ebigambo eby’omu kamwa kange: n’emisango gyo giriŋŋanga omusana ogufuluma. 66:6 1 Sam 15:22, Mat 9:13; 12:7Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka; n’okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa. 76:7 Ma 17:2, Yob 31:33, Kos 5:7Naye bo nga Adamu basobezza endagaano: eyo bankuusizza. 8Gireyaadi kibuga ky’abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi. 9Era ng’ebibiina eby’abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby’obukaba. 10Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky’ekivve: obwenzi bulabikidde eyo mu Efulayimu, Isiraeri ayonoonese. 116:11 Yob 42:10, Zab 126:1, Yo 3:13Era naawe, ai Yuda, ebikungulwa byakuteekerwawo, bwe ndikomyawo obusibe obw’abantu bange.