
5
15:1 Kos 9:8Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli. 25:2 Zab 50:21, Kos 9:9,15Era abajeemu bagenze nnyo wansi nga batta; naye nze ndi munenya w’abo bonna. 35:3 Am 3:2; 5:12Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa: kubanga kaakano, ai Efulayimu, okoze eby’obwenzi, Isiraeri ayonoonese. 45:4 Is 59:2Ebikolwa byabwe tebibagaanye kukyukira Katonda waabwe: kubanga omwoyo ogw’obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama. 55:5 Yer 23:29, Beb 4:12Era amalala ga Isiraeri gaba mujulirwa gy’ali mu maaso ge: Isiraeri ne Efulayimu kyebaliva beesittala mu butali butuukirivu bwabwe: era ne Yuda alyesittalira wamu nabo. 65:6 1 Sam 15:22, Mat 9:13; 12:7Baligenda n’embuzi zaabwe n’ente zaabwe okunoonya Mukama; naye tebalimulaba: abeeyawuddeko. 75:7 Ma 17:2, Yob 31:33, Kos 5:7Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana ab’amakiro: kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n’ennimiro zaabwe.
8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n’ekkondeere mu Laama: mulaye eŋŋoma e Besaveni; nti Ennyuma wo, ai Benyamini. 9Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw’okunenyezebwako: mmanyisizza mu bika bya Isiraeri ebyo ebitalirema kubaawo. 10Abakungu ba Yuda bali ng’abo abajjulula akabonero k’ensalo: ndifuka obusungu bwange ku bo ng’amazzi. 115:11 Yob 42:10, Zab 126:1, Yo 3:13Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okutambula okugoberera ekiragiro. 125:12 Yob 13:28Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng’ennyenje, n’eri ennyumba ya Yuda ng’okuvunda. 135:13 2 Bassek 15:19, Is 1:5,6, Kos 14:3Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n’alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n’agenda eri Obwasuli n’atumira kabaka Yalebu: naye tayinza kubawonya, so talibavumula ekiwundu kyammwe. 145:14 Kos 13:7Kubanga ndiba eri Efulayimu ng’empologoma, era ng’empologoma ento eri ennyumba ya Yuda: nze, nze mwene, nditaagula ne nvaawo; nditwalira ddala so tewaliba wa kuwonya. 155:15 Is 26:16, Yer 29:10-12Ndigenda ne nzirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange: mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya.