
4
14:1 Is 3:13, Yer 25:31, Mi 6:2Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri: kubanga Mukama alina empaka n’abo abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde okusaasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi. 24:2 Kos 7:1Tewali kintu wabula okulayira n’okumenya endagaano n’okutta n’okubba n’okwenda; bawaguza, n’omusaayi gukoma ku musaayi. 34:3 Is 24:4, Yer 4:28, Yo 1:10,18, Zef 1:3Ensi kyeriva ewuubaala, na buli muntu agituulamu aliyongobera, wamu n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga; weewaawo, n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja biriggibwawo. 44:4 Ma 17:12Era naye waleme okubaawo omuntu awakana so waleme okubaawo anenya: kubanga abantu bo bali ng’abo abawakanya kabona. 5Era olyesittala emisana, era ne nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro; era ndizikiriza nnyoko. 64:6 Nge 1:29, Is 5:13, Yer 23:39Abantu bange bazikiridde olw’okubulwa okumanya: kubanga ogaanyi okumanya, nange ndikugaana ggwe, olemenga okubeera kabona gye ndi: kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo. 74:7 Mal 2:9Nga bwe baayala, bwe batyo bwe bannyonoona: ndiwaanyisa ekitiibwa kyabwe okuba ensonyi. 8Ekibi ky’abantu bange ye mmere yaabwe, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe. 94:9 Is 24:2Awo olulituuka ng’abantu bwe bali ne kabona bw’atyo: era ndibabonereza olw’amakubo gaabwe, era ndibasasula ebikolwa byabwe. 104:10 Kag 1:6Awo balirya ne batakkuta; balyenda so tebalyala: kubanga baleseeyo okussaayo omwoyo eri Mukama. 114:11 1 Bassek 11:4Obwenzi n’omwenge omusu bimalawo okutegeera. 124:12 Yer 2:27Abantu bange beebuuza ku kikonge kyabwe, n’omuggo gwabwe gwe gubabuulira: kubanga omwoyo ogw’obwenzi gubakyamizza, era bagenze nga benda okuva wansi wa Katonda waabwe. 134:13 Is 1:29, Ez 6:13Basalira ssaddaaka ku ntikko z’ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w’emyalooni n’emiribine n’emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: abawala bammwe kyebava beefuula abenzi, n’abagole bammwe benda. 144:14 Kos 9:10Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde abagole bammwe bwe bakabawala; kubanga bo bennyini beeyawula n’abakazi abatambuzi: n’abantu abatategeera balisuulibwa. 154:15 1 Bassek 12:29, Kos 9:15; 12:11, Am 4:4Ggwe, Isiraeri, newakubadde nga weefuula omwenzi, naye Yuda aleme okusobya; so temujjanga e Girugaali, so temwambukanga e Besaveni, so temulayiranga nti Nga Mukama bw’ali omulamu. 16Kubanga Isiraeri akoze eby’obukakanyavu ng’ente enduusi enkakanyavu: kaakano Mukama alibaliisa ng’omwana gw’endiga mu kifo ekigazi. 17Efulayimu yeegasse n’ebifaananyi; muleke. 18Bye banywa bikaatuuse: benda olutata; abakulu be baagala nnyo ensonyi. 194:19 Is 1:29; 57:13, Yer 4:11, Kos 13:15Empewo emusaanikidde mu biwaawaatiro byayo; era balikwatibwa ensonyi olwa ssaddaaka zaabwe.