
2
12:1,2 Is 50:1Mugambe baganda bammwe nti Ami; era mugambe bannyammwe nti Lukama.
2Muwoze ne nnyammwe, muwoze: kubanga si mukazi wange, so nange siri bba: era aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n’obukaba bwe okuva wakati w’amabeere ge; 32:3 Ez 19:13nneme okumwambulira ddala, ne mmuteekawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalirwa, ne mmufuula ng’eddungu, ne mmuteekawo ng’ensi enkalu, ne mmussa ennyonta; 4weewaawo, abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi. 52:5 Yer 44:17Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi: eyabazaala yawemuka: kubanga yayogera nti Ndigoberera baganzi bange abampa emmere yange n’amazzi gange, ebyoya byange n’obugoogwa bwange, amafuta gange n’ebyange ebyokunywa. 62:6 Yob 3:23; 19:8Kale, laba, ndiziba ekkubo lyo n’amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba empitiro ze. 72:7 Is 54:5,6, Luk 15:17,18Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n’alyoka ayogera nti Naagenda ne nzirayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga kaakano. 82:8 Is 1:3, Ez 16:19Kubanga teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n’omwenge n’amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye baaweerezesa Baali. 92:9 Yo 1:10Kyendiva nkomyawo eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n’omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne nziyawo ebyoya byange n’obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze. 102:10 Kung 1:8Awo kaakano naayolesa obukaba bwe baganzi be nga balaba, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange. 112:11 Is 1:13,14, Am 8:10Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n’okukuŋŋaana kwe kwonna okutukuvu. 122:12 Is 5:5, Mi 1:7Era ndizisa emizabbibu gye n’emitiini gye, gye yayogerako nti Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde: era ndigifuula ekibira, n’ensolo ez’omu nsiko zirigirya. 132:13 Ez 23:40Era ndimubonereza olw’ennaku za Babaali be yayoterezanga obubaane; bwe yeeyonja n’empeta ze ez’omu matu n’eby’obuyonjo bwe n’agoberera baganzi be, ne yeerabira nze, bw’ayogera Mukama. 14Kale, laba, ndimusendasenda, ne mmuleeta mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa. 152:15 Yer 2:2, Kos 11:1Era ndimuwa ensuku ze ez’emizabbibu nga nnyima eyo, n’ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw’okusuubira: era aliyima eyo okuddamu nga mu nnaku ez’obuto bwe, era nga mu nnaku lwe yalinnya okuva mu nsi y’e Misiri. 16Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, olimpita Isi; so tokyampita Baali. 172:17 Kuv 23:13, Zef 1:4Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa amannya gaabwe. 182:18 Leev 26:5, Yob 5:23, Is 2:4, Ez 34:25; 39:9,10Awo ku lunaku olwo ndibalagaanira, endagaano n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga n’ebintu eby’ettaka ebyewalula: era ndimenya omutego n’ekitala n’olutalo okuva mu nsi, era ndibagalamiza mirembe. 192:19 Yer 3:14,15, 2 Kol 11:2Era ndikwogerereza ennaku zonna; weewaawo, ndikwogereza mu butuukirivu ne mu musango ne mu kisa ne mu kusaasira. 202:20 Yer 31:34, Yok 17:3Ndikwogereza mu bwesigwa: era olimanya Mukama. 212:21 Zek 8:12Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiyitaba, bw’ayogera Mukama, ndiyitaba eggulu, nalyo liriyitaba ensi; 22n’ensi eriyitaba eŋŋaano n’omwenge n’amafuta; nabyo biriyitaba Yezuleeri. 232:23 Yer 31:33, Ez 36:9, Kos 1:6,9, Zek 13:9, Bar 9:25,26, 1 Peet 2:10Era ndimusiga gye ndi mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti Mmwe muli bantu bange; nabo balyogera nti Ggwe oli Katonda wange.