
14
1Ai Isiraeri, komawo eri Mukama Katonda wo; kubanga ogudde olw’obutali butuukirivu bwo. 214:2 Zab 50:13,14, Beb 13:15Mutwale ebigambo wamu nammwe, mukomewo eri Mukama: mumugambe nti Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe, ng’ente ennume. 314:3 Zab 10:14, Is 30:16; 31:1Asuli talituwonya; tetulyebagala embalaasi: so tetuligamba nate mulimu gwa mikono gyaffe nti Mmwe muli bakatonda baffe: kubanga eri ggwe atalina kitaawe gy’alabira okusaasirwa. 4Ndiwonya okudda kwabwe ennyuma, ndibaagala ku bwange: kubanga obusungu bwange bukyuse okumuvaako. 514:5 Zab 92:12, Is 27:6; 35:2, Kos 6:3Ndiba eri Isiraeri ng’omusulo: alimulisa ng’eddanga, era alisimba emizi gye nga Lebanooni. 614:6 Zab 52:8Amatabi ge galiranda, n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni, n’akaloosa ke nga Lebanooni. 714:7 Zab 91:1Ababeera wansi w’ekisiikirize kye balikomawo; balirama ng’eŋŋaano, ne bamulisa ng’omuzabbibu: akawoowo ke kaliba ng’omwenge ogwa Lebanooni. 814:8 Is 30:22, Kos 2:8, Yok 15:4,5Efulayimu alyogera nti Nkyafaayo ki eri ebifaananyi? Nze njitabye, era ndissaayo omwoyo eri ye: nninga omuberosi omugimu; ebibala byo birabika okuva gye ndi. 914:9 Zab 107:43, Nge 10:29, Yer 9:12, Dan 12:10Ani alina amagezi n’ategeera bino? ani alina obukabakaba n’abimanya? kubanga amakubo ga Mukama ga nsonga, n’abatuukirivu banaagatambulirangamu; naye abasobya banaagwanga omwo.