
13
1Efulayimu bwe yayogera, ne wabaawo okukankana; yeegulumiza mu Isiraeri: naye bwe yayonoona olwa Baali, n’afa. 213:2 1 Bassek 19:18, Is 40:19,20, Zab 115:4Awo kaakano beeyongerayongera okwonoona, era beekoledde ebifaananyi ebisaanuuse ne ffeeza yaabwe, esanamu ng’amagezi gaabwe bo bwe gali, zonna mulimu gwa mukozi: bazoogerako nti Abasajja abasala ssaddaaka banywegere ennyana. 313:3 Zab 1:4; 68:2, Kos 6:4Kyebaliva babeera ng’ekire eky’enkya, era ng’omusulo oguggwaako nga bukyali, ng’ebisusunku embuyaga ez’akazimu bye zitwala okubiggya mu gguuliro, era ng’omukka oguva mu kituli ogufuluma. 413:4 Kuv 20:3, Is 43:11; 45:21Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y’e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wazira nze. 513:5 Ma 2:7Nakumanyira mu ddungu, mu nsi ey’ennyonta ennyingi. 613:6 Ma 8:12-14, Kos 4:7Ng’eddundiro lyabwe bwe lyabanga, bwe bakkutanga bwe batyo; bakkuta, omutina gwabwe ne gwegulumiza; kyebavudde banneerabira nze. 713:7 Yer 5:6, Kos 5:14Kyenvudde mbeera gye bali ng’empologoma: ng’engo nditeegera mu kkubo: 813:8 2 Sam 17:8ndisisinkana nabo ng’eddubu enyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza olubiko olw’oku mutima gwabwe: era ndibaliira eyo ng’empologoma; ensolo ey’omu nsiko eribataagula. 913:9 Ma 33:26Kwe kuzikirira kwo, ai Isiraeri, kubanga oli mulabe wange, omulabe w’omubeezi wo. 1013:10 1 Sam 8:5,19, Kos 8:4Kabaka wo nno ali ludda wa, akulokole mu bibuga byo byonna? n’abalamuzi bo be wayogerako nti Mpa kabaka n’abakungu? 1113:11 1 Sam 8:22Nkuwadde kabaka nga ndiko obusungu, era mmuggyeewo nga ndiko ekiruyi. 1213:12 Yob 14:17Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa. 1313:13 2 Bassek 19:3, Is 13:8Obubalagaze bw’omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako: ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa. 1413:14 Is 25:8; 26:19, Ez 9:10; 37:12, 1 Kol 15:55Ndibanunula eri amaanyi ag’amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? okwenenya kulikwekebwa amaaso gange. 1513:15 Lub 41:52, Ez 17:10; 19:12Newakubadde ng’alina ebibala bingi mu baganda be, embuyaga ez’ebuvanjuba zirijja, omukka gwa Mukama ogulinnya okuva mu ddungu, oluzzi lwe ne lukalira, ensulo ye n’eggwaawo: alinyaga ebibya byonna ebisanyusa ebyaterekebwa. 1613:16 2 Bassek 8:12; 18:12, Kos 9:12; 10:14Samaliya alibaako omusango gwe; kubanga ajeemedde Katonda we: baligwa n’ekitala; abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n’abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.