
12
112:1 2 Bassek 17:4, Kos 7:13Efulayimu alya mpewo, era agoberera empewo ez’ebuvanjuba: tata kwongera bya bulimba na kuziika; era balagaana endagaano n’Obwasuli, n’amafuta gatwalibwa mu Misiri. 2Era Mukama alina empaka ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng’amakubo ge bwe gali; alimusasula ng’ebikolwa bye bwe biri. 312:3 Lub 25:26; 32:28Mu lubuto yamukwata muganda we ku kisinziiro; era bwe yakula n’aba n’obuyinza eri Katonda: 412:4 Lub 28:13,19weewaawo, yabanga n’obuyinza ku malayika n’awangula: yakaaba amaziga n’amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe; 512:5 Kuv 3:15Mukama Katonda ow’eggye; Mukama kye kijjukizo kye. 612:6 Yo 2:12,13, Mi 6:8Kale kyukira Katonda wo: okwatanga okusaasira n’omusango, omulindiriranga Katonda wo ennaku zonna.
712:7 Nge 11:1, Am 8:5, Mi 2:2; 6:11Musuubuzi, minzaani ey’obulimba eri mu mukono gwe: ayagala okujooga. 812:8 Ma 29:19, Zek 11:5, Kub 3:17Efulayimu n’ayogera nti Mazima ngaggawadde, nneefudde ebintu: mu kutegana kwange kwonna tebalindabako butali butuukirivu bwonna obwandibadde ekibi. 912:9 Leev 23:39-43, Nek 8:4-18Naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y’e Misiri; oliboolyawo ne nkutuuza mu weema nga ku nnaku ez’embaga ey’okwewombeekerako. 1012:10 2 Bassek 17:13Era nayogeranga ne bannabbi, era nnyongedde okwolesebwa; era nagereranga engero mu mukono gwa bannabbi. 11Gireyaadi butali butuukirivu? bo butaliimu bwereere; mu Girugaali gye basalira ente okuba ssaddaaka: weewaawo, ebyoto byabwe biri ng’ebifunvu mu mbibiro z’ennimiro. 1212:12 Lub 28:5; 29:20Awo Yakobo n’addukira mu nnimiro ya Alamu, Isiraeri n’aweereza omukazi, era n’alundira omukazi. 1312:13 Kuv 12:50,51, Ma 18:15, Zab 77:20Era Mukama n’aggya Isiraeri mu Misiri ku bwa nnabbi, era nnabbi ye yamuwonya. 1412:14 2 Bassek 17:17Efulayimu asunguwazizza nnyo nnyini: omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, n’ekivume kye Mukama we alikimusasula.