
11
111:1 Kuv 4:22, Ma 7:8, Kos 14:4, Mat 2:15Isiraeri bwe yali omwana omuto, namwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri. 211:2 Kos 2:13; 13:1,2Nga bwe beeyongera okubayita, bwe batyo bwe beeyongera okubavaako: baawangayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole. 311:3 Kuv 15:26, Ma 1:31, Kos 7:15Era naye nayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange; naye tebaamanya nga nze nabawonya. 411:4 Leev 26:13, Zab 78:24-29, Yer 31:3, Yok 6:44; 12:32Nabawalula n’emigwa egy’omuntu, n’ebisiba eby’okwagala; era nabanga gye bali ng’abo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, ne nteeka emmere mu maaso gaabwe. 511:5 2 Bassek 17:13,14Talidda mu nsi y’e Misiri; naye Omwasuli ye aliba kabaka we, kubanga baagaana okudda. 6N’ekitala kirigwa ku bibuga bye, era kirirya ebisiba bye ne kimalawo olw’okuteesa kwabwe bo. 711:7 Kos 14:4Era abantu bange bamaliridde okudda ennyuma okunvaako: newakubadde nga babayita okudda eri oyo ali waggulu, tewali n’omu akkiriza okumugulumiza. 811:8 Lub 14:8; 19:24,25, Ma 32:36Naakuwaayo ntya, Efulayimu? naakugabula ntya, Isiraeri? naakufuula ntya nga Aduma? naakussaawo ntya nga Zeboyimu? omutima gwange gukyuse munda yange, okusaasira kwange kwakidde wamu. 911:9 Kubal 23:19, Is 12:6Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siridda kuzikiriza Efulayimu: kubanga nze Katonda so siri muntu; Omutukuvu ali wakati wo: so siriyingira mu kibuga. 1011:10 Is 31:4, Yer 25:30, Yo 3:16Balitambula okugoberera Mukama, naye aliwuluguma ng’empologoma: kubanga aliwuluguma, n’abaana abato balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba. 1111:11 Is 60:8, Zek 10:6,10Balijja nga bakankana ng’ennyonyi eva mu Misiri, era ng’ejjiba eriva mu nsi y’e Bwasuli: era ndibatuuza mu nnyumba zaabwe, bw’ayogera Mukama.
12Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n’ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa: naye Yuda akyafuga awali Katonda, era mwesigwa awali Omutukuvu.