Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


6

1Awo abantu bwe baasooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab’obuwala, 2abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. 36:3 Zab 78:39, 1 Peet 3:19,20Mukama n’ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n’emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. 4Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b’abantu ne babazaalira abaana: bano be b’amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira. 56:5 Lub 8:21, Zab 14:2,3; 51:5, Nge 6:18, Yer 17:19, Mat 15:9, Bar 3:23Mukama n’alaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. 66:6 2 Sam 24:16, Is 63:10, Bef 4:30Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n’anakuwala mu mutima gwe. 7Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n’ensolo, n’eky’ewalula n’ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola. 86:8 Lub 19:19, Kuv 33:12Naye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.

96:9 Lub 5:22Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n’atambulira wamu ne Katonda. 10Nuuwa n’azaala abaana basatu, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. 11Ensi n’eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n’ejjula eddalu. 126:12 Zab 14:2,3Katonda n’alaba ensi, ng’eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi. 136:13 Ez 7:2,3,6, Am 8:2Katonda n’agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n’ensi. 14Weekolere eryato n’omuti goferi; osalangamu ennyumba mu lyato, osiige munda ne kungulu envumbo. 15Bw’otyo bw’okolanga: emikono ebikumi bisatu obuwanvu bw’eryato, n’emikono ataano obugazi bwalyo, n’emikono asatu obugulumivu bwalyo. 16Osalangako ekituli ku lyato, era ng’omukono gumu bw’olimala waggulu; n’omulyango gw’eryato oguteekanga mu mbiriizi zaalyo; okolanga eryato nga lirina ennyumba eya wansi, n’ey’okubiri, n’ey’okusatu. 176:17 Lub 7:4, 2 Peet 2:5Nange, laba, nze ndireeta amataba ag’amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw’obulamu wansi w’eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa. 18Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n’abaana bo, ne mukazi wo, n’abakazi b’abaana bo wamu naawe. 19Ne mu buli kiramu mu birina omubiri byonna, bibiri bibiri mu buli ngeri by’olireeta mu lyato, biryoke bibeere ebiramu awamu naawe; biriba ekisajja n’ekikazi. 20Mu bibuuka mu ngeri yaabyo, mu nte mu ngeri yaazo, mu buli ekyewalula eky’omu nsi mu ngeri yaakyo, mu buli ngeri bibiri bibiri birijja gy’oli, bibe ebiramu. 21Naawe weetwalire ku mmere yonna eriibwa, ogyekuŋŋaanyize; eriba mmere gy’oli ggwe nabyo. 226:22 Kuv 40:16, Beb 11:7Nuuwa n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda


×