Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


4

1Adamu n’amanya Kaawa mukazi we; n’abeera olubuto, n’azaala Kayini, n’ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama. 2Era nate n’azaala muganda we Abiri. Abiri n’aba musumba wa ndiga, naye Kayini n’aba mulimi wa ttaka. 34:3 Kuv 23:19Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ettaka okubiwaayo eri Katonda. 44:4 Kuv 13:12; 34:19,20, Kubal 18:17, Beb 11:4Abiri naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’akkiriza Abiri ne ky’awaddeyo: 54:5 Nge 21:27naye Kayini ne ky’awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n’asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka. 6Mukama n’agamba Kayini nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go? 74:7 Mub 8:12,13, Is 3:10,11Bw’onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw’otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n’okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoomufuganga. 84:8 Mat 23:35, 1 Yok 3:12, Yud 11Kayini n’ayogera ne Abiri muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n’alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n’amutta. 94:9 Yok 8:44Mukama n’agamba Kayini nti Aluwa Abiri muganda wo? N’ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange? 104:10 Beb 12:24N’ayogera nti Okoze ki? eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi. 114:11 Kubal 35:33, Ma 27:24Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo; 12bw’onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze. 13Kayini n’agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange tekuyinzika kugumiikirizibwa. 144:14 Lub 9:6, 2 Bassek 24:20, Zab 51:11Laba, ongobye leero mu maaso g’ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era naabanga momboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita. 154:15 Ez 9:4,6Mukama n’amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n’ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta.

164:16 2 Bassek 13:23, Yer 23:39Kayini n’ava mu maaso ga Mukama, n’atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni. 17Kayini n’amanya mukazi we; n’abeera olubuto, n’azaala Enoka: n’azimba ekibuga, n’akituuma Enoka ng’erinnya ly’omwana we. 18Ne Enoka n’azaala Iradi: Iradi n’azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n’azaala Mesusaeri: Mesusaeri n’azaala Lameka. 19Lameka n’awasa abakazi babiri; ow’olubereberye erinnya lye Ada, n’ow’okubiri erinnya lye Zira. 20Ada n’azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w’abo abatuula mu weema nga balunda. 21N’erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w’abo abakuba ennanga n’omulere. 22Nate Zira n’azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky’ekikomo n’eky’ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. 23Lameka n’agamba bakazi be nti

Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange:

Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange:

Kubanga natta omusajja kubanga yanfumita nze,

Era omuvubuka kubanga yambetenta nze:

24Obanga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu,

Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.

25Adamu n’amanya nate mukazi we; n’azaala omwana ow’obulenzi; n’amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta. 26Seezi naye n’azaala omwana ow’obulenzi; n’amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erinnya lya Mukama.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda


×