Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


30

130:1 Lub 29:31Laakeeri bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, Laakeeri n’akwatirwa obuggya muganda we; n’agamba Yakobo nti Mpa abaana, oba tompe, n’afa. 230:2 Lub 16:2; 29:29; 50:23, Yob 3:12N’obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri: n’ayogera nti Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma ebibala eby’olubuto? 330:3 Lub 16:2; 29:29; 50:23, Yob 3:12N’ayogera nti Laba omuzaana wange Bira, yingira gy’ali; alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye. 4N’amuwa Bira omuzaana we okumuwasa: Yakobo n’ayingira gy’ali. 5Bira n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi. 630:6 Lub 49:16Laakeeri n’ayogera nti Katonda ansalidde omusango, era ampulidde eddoboozi lyange, era ampadde omwana ow’obulenzi: kyeyava amutuuma erinnya lye Ddaani. 7Bira omuzaana wa Laakeeri n’aba olubuto nate, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’okubiri. 8Laakeeri n’ayogera nti Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw’amaanyi, era mmezze: n’amutuuma erinnya lye Nafutaali. 9Leeya bwe yalaba ng’alekedde awo okuzaala, n’addira Zirupa omuzaana we, n’amuwa Yakobo okumuwasa. 1030:10 Lub 29:24Zirupa omuzaana wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi. 11Leeya n’ayogera nti Kirungi! n’amutuuma erinnya lye Gaadi. 12Zirupa omuzaana wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’okubiri. 13Leeya n’ayogera nti Ndabye omukisa! kubanga abawala banampitanga wa mukisa; n’amutuuma erinnya lye Aseri. 1430:14 Lub 7:13Lewubeeni n’agenda mu nnaku mwe baali bakungulira eŋŋaano, n’alaba amadudayimu mu nnimiro, n’agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n’amugamba Leeya nti Mpa, nkwegayiridde, ku madudayimu ag’omwana wo. 15N’amugamba ye nti Kigambo kitono okunziyako baze? era oyagala okunziyako n’amadudayimu ag’omwana wange? Laakeeri n’amugamba nti Kyanaava asula naawe ekiro kino olw’amadudayimu ag’omwana wo. 16Yakobo n’ava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’ayogera nti Kikugwanira okuyingira gye ndi; kubanga mazima nkuweeredde amadudayimu ag’omwana wange. N’asula naye ekiro ekyo. 17Katonda n’awulira Leeya, n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’okutaano. 18Leeya n’ayogera nti Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange: n’amutuuma erinnya lye Isakaali. 19Leeya n’aba olubuto nate, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’omukaaga. 20Leeya n’ayogera nti Katonda ampadde ekirabo eky’obugole ekirungi; kaakano baze anaatuulanga nange kubanga mmuzaalidde abaana ab’obulenzi mukaaga: n’amutuuma erinnya lye Zebbulooni. 21Oluvannyuma n’azaala omwana ow’obuwala, n’amutuuma erinnya Dina. 2230:22 Lub 8:1; 29:31Katonda n’ajjukira Laakeeri, Katonda n’amuwulira, n’aggula olubuto lwe. 2330:23 Is 4:2, Luk 1:25N’aba olubuto, n’azaala omwana ow’obulenzi: n’ayogera nti Katonda anziyeeko okuvumibwa kwange: 2430:24 Lub 35:17n’amutuuma erinnya lye Yusufu, ng’ayogera nti Mukama annyongereko omwana omulala ow’obulenzi.

25Awo olwatuuka, Laakeeri bwe yamala okuzaala Yusufu, Yakobo n’agamba Labbaani nti Nsindika ŋŋende mu kifo ky’ewaffe, era mu nsi ey’ewaffe. 2630:26 Lub 29:20,30Mpa bakazi bange n’abaana bange be nnakuweererezanga, nneegendere: kubanga omanyi okuweereza kwange kwe nnakuweerezanga. 2730:27 Lub 39:3,5Labbaani n’amugamba nti Kaakano obanga ndabye ekisa mu maaso go, beera wano: kubanga nfumiitirizza nga Mukama yampa omukisa ku bubwo. 2830:28 Lub 29:15N’ayogera nti Nsalira empeera yo, nange naagiwanga. 2930:29 Lub 31:6,38-40N’amugamba nti Omanyi bwe nnakuweerezanga, era ebisibo byo bwe byali nange. 30Kubanga bye walina nga sinnajja bitono, era byeyongedde okuba ebingi; era Mukama akuwadde omukisa gye nnakyukiranga yonna: ne kaakano ndifuna ddi eby’ennyumba yange nze era? 31N’ayogera nti Naakuwa ki? Yakobo n’ayogera nti Toliiko ky’onompa: bw’olinkolera kino, naalundanga nate ekisibo kyo, naakikuumanga. 3230:32 Lub 31:8Naayita leero mu kisibo kyo kyonna, nga nziyamu buli eya bujagijagi n’eya bitanga, na buli nzirugavu mu ndiga, n’eza bitanga n’eza bujagijagi mu mbuzi: era y’eneebanga empeera yange. 33Bwe butyo obutuukirivu bwange bulimpolereza oluvannyuma, bw’olijja olw’empeera yange eri mu maaso go: buli eteri ya bujagijagi oba eya bitanga mu mbuzi, oba nzirugavu mu ndiga, eyo bw’erirabika nange eribalibwa nga nzibe. 34Labbaani n’ayogera nti Laba, nandyagadde kibeere ng’ekigambo kyo bwe kiri. 35N’aggyamu ku lunaku olwo embuzi ennume eza biwuuga n’eza bujagijagi n’eza bitanga, buli eyaliko ebbala ejjeru, n’enzirugavu zonna mu ndiga n’aziwa mu mukono gw’abaana be; 36n’assaawo olugendo lwa nnaku ssatu wakati we ne Yakobo; Yakobo n’alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo. 37Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi n’obw’omwalamoni; n’abusasambulako enguudo ezitukula, n’alabisa obutukuvu obwali ku buti. 3830:38 Kuv 2:16N’asimba obuti bw’asasambudde mu maaso g’ebisibo ku mmanvu mu byesero eby’okunywesezaamu ebisibo we byajja okunywa; ne ziwaka amawako bwe zajja okunywa. 39Ebisibo ne biwakira mu maaso g’obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga n’eza bujagijagi n’eza bitanga. 40Yakobo n’ayawula mu baana, n’atunuza amaaso g’ekisibo eri aba biwuuga, n’eri abaddugavu bonna ab’omu kisibo kya Labbaani; n’ayawulako ebisibo bye, n’atabigatta n’ekisibo kya Labbaani. 41Awo olwatuuka ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zaawakanga, Yakobo n’ateeka obuti mu maaso g’ekisibo mu byesero, ziwakire awali obuti; 42naye ekisibo bwe kyabanga ekibi, n’atabussangawo; bwe zityo embi ze zaabanga eza Labbaani, n’ez’amaanyi nga ze za Yakobo. 4330:43 Lub 24:35; 26:13,14Omusajja ne yeeyongera nnyo, n’aba n’ebisibo binene, n’abazaana n’abaddu, n’eŋŋamira n’endogoyi.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda