Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


3

13:1 Mat 10:16, Kub 12:9; 20:2N’omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez’omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku? 2Omukazi n’agamba omusota nti Ebibala by’emiti egy’omu lusuku tulya; 33:3 Lub 2:17wabula ebibala by’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatangako muleme okufa. 43:4 2 Kol 11:3Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa. 5Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi. 63:6 Kos 6:7, Bar 5:12, 1 Tim 2:14Omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n’omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ku bibala byagwo n’alya, n’awa era ne ku musajja we naye n’alya. 7Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g’emiti ne beekolera ebyokwambala. 83:8 Yob 31:33, Zab 139:1-12, Yer 23:23,24Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu lusuku mu kiseera eky’empewo: omusajja ne mukazi we ne beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy’omu lusuku. 9Mukama Katonda n’ayita omusajja n’amugamba nti Oli luuyi wa? 103:10 Yob 23:1N’ayogera nti Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, n’entya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka. 11N’ayogera nti Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako? 123:12 Nge 28:13Omusajja n’ayogera nti Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku muti, ne ndya. 13Mukama Katonda n’agamba omukazi nti Kiki kino ky’okoze? Omukazi n’ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne ndya. 143:14 Is 65:25, Mi 7:17Mukama Katonda n’agamba omusota nti Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez’omu nnyumba zonna, n’okusinga buli nsolo ey’omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyanga enfuufu ennaku zonna ez’obulamu bwo: 153:15 Is 7:14, Mat 1:23,25, Luk 1:34,35, Bar 16:20, Bag 4:4, Kub 20:1-3nange obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro. 163:16 Yok 16:21, 1 Kol 11:3, Bef 5:22-24, Tit 2:5N’agamba omukazi nti Okwongera naakwongerangako obulumi bwo n’okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw’onoozaaliranga abaana; n’okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga. 173:17 Lub 5:29, Mub 2:22,23, Bar 8:20-22N’agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw’onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez’obulamu bwo; 18amaggwa n’amatovu g’eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw’omu nnimiro. 193:19 Lub 2:7, Yob 34:15Mu ntuuyo ez’omu maaso go mw’onooliiranga emmere, okutuusa lw’olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda. 20Omusajja n’atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w’abo bonna abalamu. 21Mukama Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by’amaliba, n’abambaza.

223:22 Lub 2:9; 3:5Mukama Katonda n’ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng’omu ku ffe, okumanyanga obulungi n’obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw’obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n’emirembe; 23Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa. 243:24 Lub 2:8, Zab 104:4, Beb 1:7Bw’atyo n’agoba omuntu; n’azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n’ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery’omuti ogw’obulamu.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda


×