Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


15

115:1 Lub 26:24, Zab 3:3; 18:2, Luk 1:13,30, Beb 11:6Oluvannyuma lw’ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti Totya, Ibulaamu: nze ngabo yo, n’empeera yo ennene ennyo. 2Ibulaamu n’ayogera nti Ai Mukama Katonda, onompa ki, kubanga ntambula nga sirina mwana, naye alirya ennyumba yange ye Ddamesiko Erieza? 315:3 Lub 14:14Ibulaamu n’ayogera nti Laba, nze tompadde zadde: era, laba, eyazaalirwa mu nnyumba yange ye musika wange. 415:4 Lub 17:16Era, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, nga kyogera nti Omuntu oyo taliba musika wo; naye aliva mu ntumbwe zo ggwe ye aliba omusika wo. 515:5 Lub 22:17, Kuv 32:13, Zab 147:4, Bar 4:18, Beb 11:12N’amufulumya ebweru, n’ayogera nti Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw’onooyinza okuzibala: n’amugamba nti Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo. 615:6 Zab 106:31, Bar 4:3,9,22, Bag 3:6, Yak 2:23N’akkiriza Mukama; n’akumubalira okuba obutuukirivu. 715:7 Lub 11:31; 12:1N’amugamba nti Nze Mukama eyakuggya mu Uli eya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira. 815:8 Balam 6:17, 2 Bassek 20:8, Is 7:11-13, Luk 1:18N’ayogera nti Ai Mukama Katonda, kiki ekinantegeeza nga ndigisikira? 9N’amugamba nti Ontwalire ente enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n’embuzi enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n’endiga ensajja eyaakamaze emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n’ejjiba etto. 1015:10 Leev 1:17, Yer 34:18,19Ne yeetwalira ebyo byonna, n’abyasaamu wakati, n’ateeka ebitundu bibiri bibiri nga birabagana: naye ennyonyi n’atazaasaamu. 11N’amasega ne gagwa ku mirambo, Ibulaamu n’agagoba. 1215:12 Lub 2:21Awo enjuba bwe yali ng’egwa, otulo otungi ne tugwa ku Ibulaamu; era, laba, entiisa ey’ekizikiza ekikutte n’emugwako. 1315:13 Kuv 1:11,12; 12:40, Bik 7:6N’agamba Ibulaamu nti Tegeerera ddala ng’ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaabwe, era balibaweereza; era balibabonyezabonyeza emyaka bina; 1415:14 Kuv 6:6; 12:36, Bik 7:7era n’eggwanga eryo, lye baliweereza, ndirisalira omusango: ne balyoka bavaamu nga balina ebintu bingi. 1515:15 Lub 25:8Naye ggwe oligenda awali bajjajja bo n’emirembe; oliziikibwa bw’olimala okuwangaala obulungi. 1615:16 1 Bassek 21:26, Am 2:9, Mat 23:32, 1 Bas 2:16Ne mu mirembe egy’okuna balikomawo nate wano: kubanga obutali butuukirivu obw’Omwamoli tebunnatuukirira. 17Awo, enjuba bwe yamala okugwa, ekizikiza nga kikutte, laba, ekikoomi ekinyooka n’omumuli ogwaka ne biyita wakati awali ebitundu ebyo. 1815:18 Lub 12:7; 13:15, Kuv 23:31, Ma 1:7, Yos 1:4, Nek 9:8, Is 27:12Ku lunaku olwo Mukama n’alagaana ne Ibulaamu, ng’ayogera nti Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumooni, 20n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi, n’Omuyebusi.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda