Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


11

1N’ensi zonna zaalina olulimi lumu n’enjogera emu. 211:2 Dan 1:2Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi Sinali; ne batuula omwo. 3Ne bagambagana nti Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala. Awo ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, n’ebitosi mu kifo ky’ennoni. 411:4 Ma 1:28Ne boogera nti Kale nno, twezimbire ekibuga, n’ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna. 511:5 Lub 18:21Mukama n’akka okulaba ekibuga n’ekigo, abaana b’abantu bye bazimba. 6Mukama n’ayogera nti Laba, abo lye ggwanga limu, era bonna balina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola. 711:7 Lub 1:26; 3:22, Is 6:8Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera yaabwe bokka na bokka. 8Bw’atyo Mukama n’abasaasaanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga. 9Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi zonna: n’okuva eyo Mukama n’abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.

1011:10-26 1 Byom 1:17-27Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu yali yaakamaze emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi amataba nga gaakamaze emyaka ebiri okubaawo: 11Seemu n’awangaala bwe yamala okuzaala Alupakusaadi emyaka bitaano, n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

12Alupakusaadi n’amala emyaka asatu mu etaano, n’azaala Seera: 13Alupakusaadi n’awangaala bwe yamala okuzaala Seera emyaka bina mu esatu, n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

14Seera n’amala emyaka asatu, n’azaala Eberi: 15Seera n’awangaala bwe yamala okuzaala Eberi emyaka bina mu esatu, n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

16Eberi n’amala emyaka asatu mu ena, n’azaala Peregi: 17Eberi n’awangaala bwe yamala okuzaala Peregi emyaka bina mu asatu n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

18Peregi n’amala emyaka asatu, n’azaala Leewo: 19Peregi n’awangaala bwe yamala okuzaala Leewo emyaka bibiri mu mwenda, n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

20Leewo n’amala emyaka asatu mu ebiri, n’azaala Serugi; 21Leewo n’awangaala bwe yamala okuzaala Serugi emyaka bibiri mu musanvu, n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

22Serugi n’amala emyaka asatu, n’azaala Nakoli: 23Serugi n’awangaala bwe yamala okuzaala Nakoli emyaka bibiri, n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

24Nakoli n’amala emyaka abiri mu mwenda, n’azaala Teera: 25Nakoli n’awangaala bwe yamala okuzaala Teera emyaka kikumi mu kkumi mu mwenda, n’azaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

2611:26 Yos 24:2Teera n’amala emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani.

27Era kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n’azaala Lutti. 28Kalani n’afiira awali kitaawe mu nsi mwe yazaalirwa, mu Uli, y’ensi ey’Abakaludaaya. 2911:29 Lub 17:15; 22:20Ne Ibulaamu ne Nakoli ne beewasiza abakazi: omukazi wa Ibulaamu erinnya lye Salaayi; n’omukazi wa Nakoli erinnya lye Mirika, omwana wa Kalani, ye kitaawe wa Mirika, era kitaawe wa Isika. 30Era Salaayi yali mugumba; teyalina mwana. 3111:31 Lub 15:7, Nek 9:7, Bik 7:4Teera n’atwala Ibulaamu omwana we, ne Lutti, omwana wa Kalani, omuzzukulu we, ne Salaayi muka mwana we, omukazi w’omwana we Ibulaamu; ne bavaayo nabo mu Uli, ye ensi ey’Abakaludaaya, okuyingira mu nsi ya Kanani; ne batuuka e Kalani ne batuula eyo. 32N’ennaku za Teera zaali emyaka bibiri mu etaano: Tera n’afiira mu Kalani.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda


×