Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


10

110:1-5 1 Byom 1:5-7, Ez 38:1-6Ne kuno kwe kuzaala kw’abaana ba Nuuwa, Seemu, Kaamu ne Yafeesi: abaana ne babazaalirwa amataba nga gamaze okubaawo.

2Abaana ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi. 3N’abaana ba Gomeri: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma. 4N’abaana ba Yavani: Erisa, ne Talusiisi, Kitimu, ne Dodanimu. 5Abo be baagabirwa ebizinga eby’amawanga mu nsi zaabwe, buli muntu ng’olulimi lwe bwe lwali; ng’ebika byabwe bwe byali, mu mawanga gaabwe.

610:6-8 1 Byom 1:8-10N’abaana ba Kaamu: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani. 7N’abaana ba Kuusi: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka: n’abaana ba Laama: Seeba, ne Dedani. 8Kuusi n’azaala Nimuloodi; n’atanula okuba ow’amaanyi mu nsi. 9Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama: kyekiva kyogerwa nti Nga Nimuloodi omuyizzi ow’amaanyi mu maaso ga Mukama. 10N’okusooka kw’obwakabaka bwe kwali Baberi, ne Ereki, ne Akudi, ne Kalune, mu nsi Sinali. 11N’ava mu nsi omwo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala, 12ne Leseni ekiri wakati wa Nineeve ne Kala (ekyo kye kibuga ekinene). 1310:13-18 1 Byom 1:11-16Mizulayimu n’azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 14ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti), ne Kafutolimu.

15Kanani n’azaala Zidoni omubereberye we, ne Keesi, 16n’Omuyebusi, n’Omwamoli, n’Omugirugaasi; 17n’Omukiivi, n’Omwaluki, n’Omusiini; 18n’Omwaluvada, n’Omuzemali, n’Omukamasi; n’ebika eby’Omukanani ne biddirira abo okubuna. 19N’ensalo ey’Omukanani yava mu Zidoni, ng’ogenda e Gerali, n’etuuka ku Gaza; era yatuuka ku Lasa, ng’ogenda e Sodoma ne Ggomola ne Aduma ne Zeboyimu. 20Abo be baana ba Kaamu, ebika byabwe nga bwe byali, n’ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, mu mawanga gaabwe.

21Era ne Seemu, jjajja w’abaana bonna aba Eberi, muganda wa Yafeesi omukulu, naye n’azaalirwa abaana. 2210:22 1 Byom 1:17-25Abaana ba Seemu: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi, ne Alamu. 23N’abaana ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri, ne Masi. 24Ne Alupakusaadi n’azaala Seera:; Seera n’azaala Eberi. 25Eberi n’azaalirwa abaana babiri: erinnya ly’omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi zonna mwe zaagabirwa; n’erinnya lya muganda we Yokutaani. 26Yokutaani n’azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera; 27ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 28ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba; 29ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu: abo bonna baana ba Yokutaani. 30N’ensi gye baatuulamu yava ku Mesa, ng’ogenda e Serali, olusozi olw’ebuvanjuba. 31Abo be baana ba Seemu, ebika byabwe nga bwe byali, n’ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, amawanga gaabwe nga bwe gaali.

3210:32 Lub 9:19Ebyo bye bika eby’abaana ba Nuuwa, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe: era mu abo mwe gaava amawanga okwawulirwa mu nsi amataba nga gamaze okubaawo.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda


×