Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


7

17:1-5 1 Byom 6:4-14Awo oluvannyuma lw’ebyo ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi Ezera mutabani wa Seraya mutabani wa Azaliya mutabani wa Kirukiya 2mutabani wa Sallumu mutabani wa Zadoki mutabani wa Akitubu 3mutabani wa Amaliya mutabani wa Azaliya mutabani wa Merayoosi 4mutabani wa Zerakiya mutabani wa Uzzi mutabani wa Bukki 5mutabani wa Abisuwa mutabani wa Finekaasi mutabani wa Ereyazaali mutabani wa Alooni kabona asinga obukulu: 67:6 Ezer 8:31, Nek 2:8; 8:1; 12:26Ezera oyo n’ayambuka ng’ava e Babulooni; era yali muwandiisi mwangu mu mateeka ga Musa, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa; kabaka n’amuwa byonna bye yasaba, olw’omukono gwa Mukama Katonda we ogwali ku ye. 77:7 Ezer 2:43; 8:1-20Awo abamu ku baana ba Isiraeri ne bambuka ne ku bakabona n’Abaleevi n’abayimbi n’abaggazi ne Banesinimu ne bajja e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogwa Alutagizerugizi kabaka. 8N’ajja e Yerusaalemi mu mwezi ogw’okutaano ogw’omu mwaka ogw’omusanvu ogwa kabaka. 9Kubanga ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kwe yasookera okwambuka okuva e Babulooni, ne ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’okutaano kwe yatuukira e Yerusaalemi, olw’omukono omulungi ogwa Katonda we ogwali ku ye. 107:10 Ezer 7:25, Nek 8:1-8, Mal 2:7, Mat 23:2,3Kubanga Ezera yali akakasizza omutima gwe okunoonya amateeka ga Mukama n’okugakolanga n’okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n’emisango.

11Era ebbaluwa eno yaggibwa mu bbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona, omuwandiisi, omuwandiisi w’ebigambo eby’ebiragiro bya Mukama era ow’amateeka eri Isiraeri. 127:12 Dan 2:37Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka awandiikidde Ezera kabona, omuwandiisi w’amateeka ga Katonda w’eggulu eyatuukirira n’ebirala bwe bityo. 13Nteeka etteeka bonna ab’oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n’Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe ddala okugenda e Yerusaalemi, bagende naawe. 147:14 Es 1:14Kubanga otumiddwa kabaka n’abateesa naye omusanvu okubuuza ebigambo bya yuda ne Yerusaalemi, ng’amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo; 157:15 2 Byom 6:2, Ezer 8:25, Zab 135:21n’okutwala ffeeza ne zaabu kabaka n’abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, ekifo kye ky’abeeramu kiri mu Yerusaalemi, 167:16 1 Byom 29:6,9ne ffeeza yonna ne zaabu gy’olisanga mu ssaza lyonna ery’e Babulooni, wamu n’ekiweebwayo ku bwabwe eky’abantu n’ekya bakabona, nga bawaayo ku bwabwe olw’ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi; 177:17 Kubal 15:2-13, Ma 12:5,11Kyoliva onyiikira ennyo okugula ebintu bino ente, endiga ennume, abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byako eby’obutta, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky’omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi. 18Era kyonna kyonna kye mulisiima okukola effeeza erifikkawo ne zaabu ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw’ayagala. 19N’ebintu by’oweebwa olw’okuweereza okw’omu nnyumba ya Katonda wo obiwangayo mu maaso ga Katonda w’e Yerusaalemi. 20Era byonna ennyumba ya Katonda wo by’eryetaaga okusukkirizaawo ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng’obiggya mu nnyumba y’eggwanika lya kabaka. 217:21 Ezer 7:6Nange, nze Alutagizerugizi kabaka, nteeka etteeka eri abawanika bonna abali emitala w’omugga, Ezera kabona omuwandiisi w’amateeka ga Katonda w’eggulu buli ky’alibasalira, kikolebwenga n’okunyiikira kwonna, 22okutuusa talanta eza ffeeza kikumi, n’ebigero by’eŋŋaano kikumi, n’ebita by’omwenge kikumi, n’ebita by’amafuta kikumi, n’omunnyo obutagwogera bwe guba gwenkana. 23Buli ekinaalagirwanga Katonda w’eggulu kikolerwenga ddala olw’ennyumba ya Katonda w’eggulu; kubanga obusungu bwandibeereddewo ki eri obwakabaka bwa kabaka ne batabani be? 247:24 Ezer 4:13,20Era tubannyonnyola ebya bakabona n’Abaleevi, abayimbi, abaggazi, Abanesinimu, oba abaddu b’ennyumba eno eya Katonda, bonna bwe benkana, tekiiyinzikenga kubasalira musolo newakubadde ebisalirwa newakubadde empooza. 257:25 Kuv 18:21,22, Ma 16:18, Ezer 7:10Naawe, Ezera, ng’amagezi ga Katonda wo bwe gali agali mu mukono gwo, londa abaami n’abalamuzi balamulenga abantu bonna abali emitala w’omugga, bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo; n’oyo atagamanyi mumuyigirizenga. 26Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo n’amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n’okunyiikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa.

277:27 1 Byom 29:10, Ezer 6:22Mukama yeebazibwe Katonda wa bajjajjaffe, eyateeka ekigambo ekyenkanidde awo mu mutima gwa kabaka, okuyonja ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi; 287:28 Ezer 9:9era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka n’abateesa naye ne mu maaso g’abakulu bonna aba kabaka ab’amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw’omukono gwa Mukama Katonda wange ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okwambuka nange.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda