
4
1Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng’abaana b’obusibe bazimbira yeekaalu Mukama Katonda wa Isiraeri; 24:2 2 Bassek 17:24,32,33; 19:37ne balyoka basemberera Zerubbaberi n’emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe ne babagamba nti Katuzimbire wamu nammwe: kubanga tunoonya Katonda wammwe era nga nammwe; era tuwaayo ssaddaaka eri ye okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w’e Bwasuli eyatulinnyisa wano. 34:3 Ezer 1:1-3, Nek 2:20, Yok 4:9Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti Temulina kigambo naffe okuzimba ennyumba eri Katonda waffe; naye ffe fekka wamu tulizimba eri Mukama Katonda wa Isiraeri nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira. 4Awo abantu ab’omu nsi ne banafuya emikono gy’abantu ba Yuda ne babateganya mu kuzimba, 5ne bagulirira ab’okusala amagezi okubaziyiza okutta okuteesa kwabwe emirembe gyonna egya Kuulo kabaka w’e Buperusi okutuusa Daliyo kabaka w’e Buperusi lwe yalya obwakabaka. 64:6 Es 1:1Ne ku mirembe gya Akaswero nga kyajje alye obwakabaka ne bawandiika okuloopa abaali mu Yuda ne Yerusaalemi.
74:7 2 Bassek 18:26Ku mirembe gya Alutagizerugizi Bisulamu n’awandiika ne Misuledasi ne Tabeeri ne banne abalala eri Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi: era ebbaluwa yawandiikirwa mu nnukuta ez’e Kisuuli, ne mu lulimi Olusuuli. 8Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiika ebbaluwa eri Alutagizerugizi kabaka okuloopa Yerusaalemi bwe bati: 94:9 2 Bassek 17:24, Ezer 5:6; 6:6awo Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala ne bawandiika; Abadinayi n’Abafalasasuki n’Abataluperi n’Abafalusi n’Abalukevi n’Abababulooni n’Abasusanuki n’Abadekayi n’Abaweramu, 10n’amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow’ekitiibwa ge yasomosa n’ateeka mu kibuga ky’e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w’omugga, n’ebirala bwe bityo. 11Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka; Abaddu bo abasajja abali emitala w’omugga n’ebirala bwe bityo. 124:12 Ezer 5:3,9Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy’oli ne bambuka batuuse gye tuli e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi. 134:13 Ezer 7:24Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale enkomerero bakabaka balifiirwa. 14Kale kubanga tulya omunnyo ogw’omu lubiri, so tetugwana kulaba kabaka ng’anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tutegeeza kabaka; 15banoonye mu kitabo eky’okujjukiza ekya bajjajjaabo: bw’otyo bw’olisanga mu kitabo eky’okujjukiza, n’otegeera ng’ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era nga kyonoona bakabaka n’amasaza era nga baajeemyanga abantu mu ekyo mu biro eby’edda: ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa. 16Tutegeeza kabaka, ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, nga olw’ekyo toliba na kitundu emitala w’omugga. 17Awo kabaka n’atumira Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w’omugga n’addamu nti Emirembe n’ebirala bwe bityo. 18Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera. 19Ne nteeka etteeka, ne banoonya, era balabye ng’ekibuga ekyo okuva mu biro eby’edda kyasaliranga bakabaka enkwe, n’obujeemu n’ekyejo byakolerwanga omwo. 204:20 1 Bassek 4:21, Ezer 7:24, Zab 72:8Era waabangawo bakabaka ab’amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w’omugga: era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n’empooza. 21Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo, ekibuga ekyo kireme okuzimbibwa okutuusa lwe nditeeka etteeka eddala. 22Era mwekuume muleme okutenguwa mu kino: akabi kandikulidde ki bakabaka ne bafiirwa? 23Awo ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa ya kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n’amaanyi n’amawaggali. 24Awo omulimu ogw’omu nnyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo; gwalekebwayo okutuusa omwaka ogw’okubiri ogw’okufuga kwa Daliyo kabaka w’e Buperusi.