
10
110:1 2 Byom 20:9, Nek 1:4-6, Dan 9:20Awo Ezera bwe yali ng’asaba ng’ayatula ng’akaaba amaziga ng’avuunamira mu maaso g’ennyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira gy’ali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene ennyo eky’abasajja n’abakazi n’abaana abato: kubanga abantu baakaaba nnyo nnyini amaziga. 210:2 Ezer 9:2Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri omu ku batabani ba Eramu, n’addamu n’agamba Ezera nti Twonoonye Katonda waffe, ne tuwasa abakazi bannaggwanga ab’oku mawanga ag’omu nsi: naye kaakano essuubi weeriri eri Isiraeri olw’ekyo. 310:3 Ma 7:2,3, Ezer 9:4; 10:44, Mal 2:16Kale nno tulagaane endagaano ne Katonda waffe okugoba abakazi bonna n’abo be baazaala, ng’okuteesa bwe kuli okwa mukama wange n’abo abakankanira ekiragiro kya Katonda waffe; era kikolebwe ng’amateeka bwe gali. 4Golokoka; kubanga ekigambo kikyo, naffe tuli naawe: guma omwoyo okikole. 510:5 Nek 5:12; 13:25Awo Ezera n’alyoka agolokoka, n’alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenna, nga banaakolanga ng’ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira. 610:6 Ma 9:18, Nek 3:1; 12:22,23Awo Ezera n’alyoka agolokoka okuva mu maaso g’ennyumba ya Katonda, n’ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu: awo bwe yatuukayo, n’atalya mmere so teyanywa mazzi: kubanga yanakuwala olw’okusobya ku abo ab’obusibe. 7Ne balangira okubunya Yuda ne Yerusaalemi abaana bonna ab’obusibe bakuŋŋaanire e Yerusaalemi; 8era buli atalijja mu bbanga ery’ennaku ssatu, ng’okuteesa kw’abakulu n’abakadde bwe kwali, afiirwe ebintu bye byonna, naye yennyini ayawulibwe mu kibiina eky’obusibe. 9Awo abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga ery’ennaku essatu; gwali mwezi gwa mwenda, ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi: abantu bonna ne batuula mu kifo ekigazi mu maaso g’ennyumba ya Katonda, nga bakankana olw’ekigambo ekyo n’olw’enkuba ennyingi. 10Awo Ezera kabona n’ayimirira n’abagamba nti Mwasobya ne muwasa abakazi bannaggwanga okwongera ku Isiraeri omusango. 1110:11 Yos 7:19Kale nno mwatule eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe mukole ebyo by’asiima: mweyawule n’amawanga ag’omu nsi n’abakazi bannaggwanga. 12Awo ekibiina kyonna ne baddamu ne boogera n’eddoboozi ddene nti Nga bw’oyogedde ebigambo byaffe, bwe kityo bwe kitugwanidde okukola. 13Naye abantu tuli bangi, era bye biro eby’enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru, so guno mulimu gwa lunaku lumu oba bbiri: kubanga twasobya nnyo mu kigambo ekyo. 1410:14 Kubal 25:4, 2 Byom 29:10; 30:8Kale abakulu baffe balonderwe ekibiina kyonna, n’abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasizza abakazi bannaggwanga bajjire mu biseera ebiteekebwawo, era wamu nabo abakadde ba buli kibuga, n’abalamuzi baakyo, okutuusa Katonda waffe lw’alikyusa ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaako, okutuusa ekigambo kino lwe kinaamalibwa. 15Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bokka ne bayimirira okugaana ekigambo kino: Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi ne babayamba. 16Awo abaana b’obusibe ne bakola bwe batyo. Awo Ezera kabona n’abamu ku mitwe gy’ennyumbaza bakitaabwe ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era bonna ng’amannya gaabwe bwe gaali, ne bayawulibwa; ne batuula ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi okukebera ekigambo ekyo. 17Ne bamala ebigambo by’abasajja bonna abaali bawasizza abakazi bannaggwanga nga tewannayitawo lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye. 1810:18 Ezer 3:2Ne mu batabani ba bakabona ne mulabika abaali bawasizza abakazi bannaggwanga: ku batabani ba Yesuwa, mutabani wa Yozadaki ne baganda be, Maaseya ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya. 1910:19 Leev 6:6, 2 Bassek 10:15Ne bawaayo emikono gyabwe nga banaagoba bakazi baabwe; era kubanga omusango gubasinze ne bawaayo endiga ennume ey’omu kisibo olw’omusango gwabwe. 2010:20-43 Ezer 2:3-42Ne ku batabani ba Immeri; Kanani ne Zebadiya. 21Ne ku batabani ba Kalimu; Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri, ne Uzziya. 22Ne ku batabani ba Pasukuli; Eriwenayi, Maaseya, Isimaeri, Nesaneri, Yozabadi, ne Erasa. 23Ne ku Baleevi; Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya (oyo ye Kerita), Pesakiya, Yuda, ne Eryeza. 24Ne ku bayimbi; Eriyasibu: ne ku baggazi; Sallumu, ne Teremu ne Uli. 25Ne ku Isiraeri: ku batabani ba Palosi; Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya ne Miyamini, ne Ereyazaali, ne Malukiya, ne Benaya. 26Ne ku batabani ba Eramu; Mattaniya, Zekkaliya, ne Yekyeri, ne Abudi, ne Yeremoosi, ne Eriya. 27Ne ku batabani ba Zattu; Eriwenayi, Eriyasibu, Mattaniya, ne Yeremoosi, ne Zabadi, ne Aziza. 28Ne ku batabani ba Bebayi; Yekokanani, Kananiya, Zabbayi, Asulaayi. 29Ne ku batabani ba Bani; Mesullamu, Malluki, ne Adaya, Yasubu, ne Seyaali, Yeremoosi. 30Ne ku batabani ba Pakasumowaabu; Aduna, ne Kerali, Benaya, Maaseya, Mattaniya, Bezaleeri, ne Binnuyi, ne Manase. 31Ne ku batabani ba Kalimu; Eryeza, Isusiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni; 32Benyamini, Malluki, Semaliya. 33Ku batabani ba Kasumu; Mattenayi, Mattata, Zabadi, Erifereti, yeremayi, Manase, Simeeyi. 34Ku batabani ba Baani; Maadayi, Amulaamu, ne Uweri; 35Benaya, Bedeya, Keruki; 36Vaniya, Meremoosi, Eriyasibu; 37Mattaniya, Mattenayi, ne Yaasu; 38ne Baani, ne Binnuyi, Simeeyi; 39ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya; 40Makunadebayi, Sasayi, Salaayi; 41Azaleri, ne Seremiya, Semaliya; 42Sallumu, Amaliya, Yusufu. 43Ku batabani ba Nebo; Yeyeri, Mattisiya, Zabadi, Zebina, Iddo, ne Yoweeri, Benaya. 4410:44 Ezer 10:3Abo bonna baali bawasizza abakazi bannaggwanga: era abamu ku bo baali balina abakazi be baali bazaddemu abaana.