
7
1Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 27:2 Is 10:23, Kung 4:18, Am 8:2nti Naawe, omwana w’omuntu, bw’ati Mukama Katonda bw’agamba ensi ya Isiraeri nti Enkomerero: enkomerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez’ensi. 37:3 Ez 18:30Kaakano enkomerero ekutuuseeko, nange ndikuweereza ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng’amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna. 47:4 Ez 9:10; 11:21So n’eriiso lyange teririkusonyiwa so sirikwatibwa kisa: naye ndikuleetako amakubo go, n’emizizo gyo giriba mu ggwe wakati: kale mulimanya nga nze Mukama.
5Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Akabi, akabi kamu: laba, kajja. 6Enkomerero etuuse, enkomerero yennyini etuuse, ezuukuka eri ggwe: laba, ejja. 77:7 Ez 12:23, Zef 1:14Omusango gwo gutuuse gy’oli, ai ggwe atuula mu nsi: ekiseera kituuse, olunaku luli kumpi; olunaku olw’okusasamaliramu so si lwa kwogereramu waggulu n’essanyu, ku nsozi. 87:8 Ez 20:21Kaakano naatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne ntuukiriza obusungu bwange eri ggwe, ne nkusalira omusango ng’amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna. 9So n’eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: ndikuleetako ng’amakubo go bwe gali, n’emizizo gyo giriba mu ggwe wakati; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba. 10Laba, olunaku, laba, lujja: omusango gwo gufulumye; omuggo gwanyizza, amalala gamulisizza. 11Ekyejo kigolokose okuba omuggo ogw’obubi; tewaliba ku bo abalisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe newakubadde obugagga bwabwe: so tewaliba bukulu mu bo. 127:12 Is 24:2, 1 Kol 7:29,30Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n’atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu buli ku lufulube lwabwe lwonna. 13Kubanga atunda talidda eri ekyo ekitundibwa, newakubadde nga bakyali balamu: kubanga okwolesebwa kwa lufulube lwabwe lwonna, tewaliba alidda; so tewaliba alyenyweza mu butali butuukirivu obw’obulamu bwe. 14Bafuuye ekkondeere bategese byonna; naye tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku lufulube lwabwe lwonna. 157:15 Yer 14:18, Kung 1:20Ekitala kiri bweru, ne kawumpuli n’enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n’ekitala; n’oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimulya. 167:16 Is 38:14Naye abo abaliwonawo ku bo baliwona, era baliba ku nsozi nga bukaamukuukulu obw’omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli muntu mu butali butuukirivu bwe. 177:17 Ez 21:7Emikono gyonna giriyongobera, n’amaviivi gonna galiba manafu ng’amazzi. 187:18 Zab 55:5, Is 15:2,3Era balyesiba ebibukutu, n’ensisi eribabikkako; n’ensonyi ziribeera ku maaso gonna, n’emitwe gyabwe gyonna giribaako ebiwalaata. 197:19 Nge 11:4, Ez 44:12, Zef 1:18, 1 Tim 6:10Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng’ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama; tebalyekkusa mmeeme zaabwe, so tebalyejjuza mbuto zaabwe: kubanga ebyo bye byabanga enkonge ey’obutali butuukirivu bwabwe. 207:20 Yer 7:30Obulungi obw’obuyonjo bwe yabusimba mu bukulu: naye ne bakolera ebifaananyi eby’emizizo gyabwe n’ebintu byabwe eby’ebivve omwo: kyenvudde mbufuula gye bali ng’ekintu ekitali kirongoofu. 217:21,22 Ez 9:7; 24:21Era ndibuwaayo mu mikono gya bannaggwanga okuba omunyago, n’eri ababi ab’omu nsi okuba eky’okugereka; era balibwonoona. 22Era ndikyusa n’amaaso gange okugabaggyako, era bo balyonoona ekifo kyange eky’ekyama: era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona. 237:23 Yer 6:7; 27:2, Ez 9:9Kola olujegere: kubanga ensi ejjudde emisango egy’omusaayi, era ekibuga kijjudde ekyejo. 247:24 Kaab 1:6Kyendiva ndeeta bannaggwanga abasinga obubi, ne balya ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag’ab’amaanyi; n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa. 257:25 Yer 8:15Okuzikirira kujja; era balinoonya emirembe, kale nga tewali. 267:26 1 Bassek 12:6, Yer 4:20, Ez 20:1,3, Mal 2:7Walijja akabi ku kabi, era waliwulirwa ebigambo ku bigambo; era balinoonya okwolesebwa eri nnabbi; naye amateeka galibula awali kabona, n’okuteesa awali abakadde. 27Kabaka aliwuubaala, n’omukungu alyambala obuyinike, n’emikono gy’abantu ab’omu nsi giryeraliikirira: ndibakola ng’ekkubo lyabwe bwe liri, era nga bwe basaanidde bwe ndibasalira omusango; kale balimanya nga nze Mukama.