
5
15:1 Is 7:20, Ez 44:20Naawe, omwana w’omuntu, ddira ekitala eky’obwogi, okyeddirire ng’akamwano ak’omumwi, okiyise ku mutwe gwo ne ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nviiri. 25:2 Ez 4:1,8; 12:14Ekitundu eky’okusatu okyokeranga mu muliro wakati mu kibuga, ennaku ez’okuzingiza nga zituukiridde; n’ekitundu eky’okusatu okiddiranga, n’otema n’ekitala okukyetooloola; n’ekitundu eky’okusatu okisaasaanyizanga eri empewo, nange ndisowola ekitala ekiribagoberera. 35:3 Yer 40:6; 52:16Era otwalangako omuwendo gwazo si nnyingi n’ozisiba mu kirenge kyo. 4Era ne ku ezo otwalangako, ozisuule mu muliro wakati, ozookere mu muliro; mu zo omuliro mwe guliva ogulibuna ennyumba yonna eya Isiraeri.
5Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Kino ye Yerusaalemi: nkitadde wakati mu mawanga, n’ensi zikyetoolodde. 65:6 Ez 16:47; 38:12Era kyajeemera emisango gyange nga kikola obubi okusinga amawanga, era kijeemedde amateeka gange okusinga ensi ezikyetoolodde: kubanga bagaanyi emisango gyange, n’amateeka gange tebagatambuliddeemu. 75:7 Ez 11:12Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng’ebiragiro bwe biri eby’amawanga agabeetoolodde; 85:8 Ez 11:9Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba. 95:9 Kung 1:12, Dan 9:12, Am 3:2Era ndikolera mu ggwe ekyo kye ssikolanga, era kye ssigenda kukola nate ekiri bwe kityo, olw’emizizo gyo gyonna. 105:10 Ma 28:64, Yer 19:9, Kung 2:20Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n’abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n’ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna. 115:11 Yer 7:30, Ez 7:20; 11:18Kale, nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n’ebibyo byonna eby’ebivve n’ebibyo byonna eby’emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n’amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa. 125:12 Yer 9:16, Ez 6:11,12Ekitundu kyo eky’okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n’enjala wakati mu ggwe; n’ekitundu eky’okusatu kirigwa n’ekitala okukwetooloola; n’ekitundu eky’okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n’ensowola ekitala ekiribagoberera. 135:13 Kung 4:11, Ez 16:42; 36:6Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw’obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange. 145:14 Yer 22:5, Ez 22:4Era nate ndikufuula amatongo n’ekivume mu mawanga gonna agakwetoolodde, abo bonna abayitawo nga balaba. 155:15 Yer 24:9, Ez 14:8; 25:17Awo kiriba kivume n’ekikiino ekiyigirwako era ekisamaalirirwa eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n’ekiruyi, era nga nnenya n’ekiruyi: nze Mukama nkyogedde: 165:16 Ma 32:23,24, Ez 4:16bwe ndibaweerezaako obusaale obubi obw’enjala obw’okuzikiriza, bwe ndiweereza okubazikiriza: era ndyongera ku mmwe enjala, era ndimenya omuggo gwammwe ogw’omugaati; 175:17 Leev 26:22, Ez 14:15era ndibaweerezaako enjala n’ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n’omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.