
45
145:1 Ez 48:8-10,29Era nate bwe muligabana n’obululu ensi okuba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw’ensi omutukuvu: obuwanvu bwagwo buliba buwanvu obw’emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n’obugazi kakumi: guliba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonna okwetooloola. 245:2 Kubal 35:2, Ez 42:16-20Ku gwo kuliggibwako olw’ekifo ekitukuvu ebikumi bitaano obuwanvu n’ebikumi bitaano obugazi okwenkanankana enjuyi zonna: n’emikono amakumi ataano olw’embuga yaako enjuyi zonna. 345:3 Ez 41:4Era oligeza ekigera kino, obuwanvu obw’obukumi bubiri mu enkumi ttaano n’obugazi obw’akakumi: n’omwo mwe muliba awatukuvu, awatukuvu ennyo. 445:4 Ez 48:11Ogwo gwe mugabo gw’ensi omutukuvu; guliba gwa bakabona, abaweereza ab’omu watukuvu, abasembera okuweereza Mukama; era kiriba kifo kya nnyumba zaabwe, era ekifo ekitukuvu eky’awatukuvu. 545:5 Ez 48:13Kale Abaleevi, abaweereza ab’omu nnyumba, baliba n’obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu n’akakumi obugazi, okuba obutaka bwabwe, ku bwabwe, olw’amayu amakumi abiri. 6Era muteekangawo obutaka obw’ekibuga, enkumi ttaano obugazi n’obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu, okuliraana ekitone eky’omugabo omutukuvu: buliba bwa nnyumba yonna eya Isiraeri. 745:7 Ez 44:3Era buli ekiriba eky’omulangira kiriba ku mabbali g’omugabo omutukuvu n’obutaka obw’ekibuga eruuyi n’eruuyi, mu maaso g’ekitone ekitukuvu ne mu maaso g’obutaka obw’ekibuga, ku luuyi olw’ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba ebuvanjuba: n’obuwanvu nga kyenkana n’omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey’ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebuvanjuba. 845:8 Ez 22:27; 46:18; 47:13Buliba butaka gy’ali mu nsi mu Isiraeri: so n’abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng’ebika byabwe bwe biri.
945:9 Yer 22:3, Ez 44:6Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Kibamale, ai abalangira ba Isiraeri: muggyeewo ekyejo n’okunyaga, mutuukirize omusango n’eby’ensonga; abantu bange mubaggyeeko obukamuzi bwammwe, bw’ayogera Mukama Katonda. 1045:10 Leev 19:36Mubanga ne minzaani ey’amazima ne efa ey’amazima n’ensuwa ey’amazima. 11Efa n’ensuwa bibenga bya kigera kimu, ensuwa egyemu ekitundu eky’ekkumi eky’ekomeri: ekigera kyayo kiba ng’ekomeri bw’eri. 1245:12 Kuv 30:13Ne sekeri eriba gera amakumi abiri: sekeri amakumi abiri ne sekeri abiri mu ttaano ne sekeri kkumi na ttaano, maane yammwe bw’eriba bw’etyo. 13Kino kye kitone kye munaawangayo; ekitundu eky’omukaaga ekya efa ekiggibwa ku komero ey’eŋŋaano, era munaawanga ekitundu eky’omukaaga ekya efa ku buli komeri eya sayiri: 14n’omugabo ogw’amafuta ogulagirwa, ogw’oku nsuwa ey’amafuta, gunaabanga kitundu kya kkumi eky’ensuwa, ekiggibwa ku kooli, ze nsuwa kkumi ye komeri: 1545:15 Leev 1:4n’omwana gw’endiga ogumu ogw’omu kisibo, oguggibwa ku bikumi bibiri, ku malundiro amagimu aga Isiraeri; olw’ekiweebwayo eky’obutta n’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, okubatangiriranga, bw’ayogera Mukama Katonda. 16Abantu bonna ab’omu nsi banaawanga olw’ekitone ekyo olw’omulangira mu Isiraeri. 1745:17 2 Byom 30:24; 35:7Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’obutta n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo eky’obutta n’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri.
1845:18 Leev 16:16, Beb 9:22Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omwezi olw’olubereberye oddiranga ente envubuka eteriiko bulema; n’olongoosa awatukuvu. 1945:19 Kuv 12:7, Ez 43:4,5,20Ne kabona atoolenga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’aguteeka ku mifuubeeto gy’ennyumba ne ku nsonda ennya ez’omugo ogw’ekyoto ne ku mifuubeeto egy’oku mulyango ogw’oluggya olw’omunda. 20Era okolanga bw’otyo ku lunaku olw’omwezi olw’omusanvu olwa buli muntu asobya n’oyo atalina magezi: bwe mutyo bwe munaatangiriranga ennyumba. 21Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omwezi olw’ekkumi n’ennya mubenga n’Okuyitako, embaga ey’ennaku omusanvu; emigaati egitazimbulukuswa gye ginaaliibwanga. 2245:22 Leev 4:14Awo ku lunaku olwo omulangira yeetegekerenga yennyini n’abantu bonna ab’omu nsi ente okuba ekiweebwayo olw’ekibi. 2345:23 Leev 23:8, Kubal 28:15Ne mu nnaku omusanvu ez’embaga ategekenga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente musanvu n’endiga ennume musanvu ezitaliiko bulema, buli lunaku okumalako ennaku omusanvu; n’embuzi ennume buli lunaku okuba ekiweebwayo olw’ekibi. 2445:24 Leev 2:1Era ategekenga ekiweebwayo eky’obutta, efa ya nte, ne efa ya ndiga ennume, na buli efa yini ey’amafuta. 2545:25 Leev 23:34-36Mu mwezi ogw’omusanvu ku lunaku olw’omwezi olw’ekkumi n’ettaano mu mbaga akolenga bw’atyo okumala ennaku omusanvu; ng’ekiweebwayo olw’ekibi bwe kiri, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta nga bwe gali.