
44
144:1 Ez 43:1Awo n’anzizaayo mu kkubo ery’omulyango ogw’ebweru ogw’awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; awo nga luggale. 244:2 Ez 43:4Awo Mukama n’aŋŋamba nti Omulyango guno guliggalwawo, teguliggulwawo so tewaliba muntu aliyingirira mu gwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiridde omwo; kye gunaavanga guggalwawo. 344:3 Lub 31:54, Ez 34:24; 46:2,8Omulangira ye alituula omwo nga ye mulangira okuliiranga emmere mu maaso ga Mukama; aliyingira ng’afuluma mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo omwo mw’anaayitanga ng’avaamu. 444:4 Ez 1:28; 43:5Awo n’antwala mu kkubo ery’omulyango ogw’obukiika obwa kkono mu maaso g’ennyumba; ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde ennyumba ya Mukama; ne nvuunama amaaso gange. 544:5 Ez 40:4; 43:11Awo Mukama n’aŋŋamba nti Omwana w’omuntu, weetegereze nnyo, otunule n’amaaso go era owulire n’amatu go ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna eby’omu nnyumba ya Mukama n’amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu nnyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu. 644:6 Ez 2:5, 1 Peet 4:3Era ogambanga abajeemu, ogambanga ennyumba ya Isiraeri nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, emizizo gyammwe gyonna gibamale, 744:7 Yer 9:26, Ez 23:39, Bik 7:51; 21:28kubanga muyingizizza bannaggwanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n’omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna. 844:8 Kubal 18:2,3,5So temukuumye bintu byange ebitukuvu bye mwalagirwa: naye mweteekeddewo mwekka abakuumi b’ebyo bye nnalagira mu watukuvu wange. 9Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba munnaggwanga, atali mukomole mu mutima era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munnaggwanga yenna anaabanga mu baana ba Isiraeri. 1044:10 Ez 4:4; 22:26; 48:11Naye Abaleevi abanneesambira ddala, Isiraeri bwe yawaba, abaawaba okunvaako okugoberera ebifaananyi byabwe; abo balibaako obutali butuukirivu bwabwe. 1144:11 Kubal 16:9, 1 Byom 26:1, Ez 46:24Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy’ennyumba, era nga baweerereza mu nnyumba; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, era banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza. 1244:12 Zab 106:26, Ez 14:3Kubanga baabaweererezanga mu maaso g’ebifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey’obutali butuukirivu eri ennyumba ya Isiraeri; kyenvudde mbayimusizaako omukono gwange, bw’ayogera Mukama Katonda, era balibaako obutali butuukirivu bwabwe. 1344:13 Kubal 18:3, 2 Bassek 23:9, Ez 32:30, Ez 40:45So tebalinsemberera okukola omulimu ogw’obwakabona gye ndi, newakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu: naye balibaako ensonyi zaabwe n’emizizo gyabwe gye baakolanga. 14Era naye ndibafuula abakuumi b’ennyumba gye baliragirwa, olw’okuweereza kwamu kwonna n’olwa byonna ebirikolebwa omwo.
1544:15 Ez 43:19; 48:11Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagirwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda: 1644:16 Ez 41:22abo banaayingiranga mu watukuvu wange, era banaasembereranga emmeeza yange okumpeereza, era banaakuumanga ebyo bye ndibalagira. 1744:17,18 Kuv 39:27-29Awo olunaatuukanga bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya bafuta; so tewaabenga byoya bye banaayambalanga bwe banaabanga nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda. 18Banaabanga n’ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga seruwale eza bafuta mu biwato byabwe; tebeesibenga kintu kyonna ekituuyanya. 1944:19 Kuv 29:37; 30:29, Leev 6:11, Ez 42:14Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw’ebweru, mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulanga ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe. 2044:20 Leev 21:5So tebamwanga mitwe gyabwe, so tebakuzanga mivumbo gyabwe; banaasalanga busazi enviiri ez’oku mitwe gyabwe. 2144:21 Leev 10:9So ne kabona yenna tanywanga mwenge nga bayingira mu luggya olw’omunda. 22So tebawasanga nnamwandu newakubadde eyagobebwa bba: naye bawasenga abawala abatamanyi musajja ab’oku zzadde ery’ennyumba ya Isiraeri, oba nnamwandu eyali muka kabona. 2344:23 Leev 10:10,11Era banaayigirizanga abantu bange enjawulo bw’eri ey’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, ne babaawuza ekitali kirongoofu n’ekirongoofu. 2444:24 Ma 17:8,9, Ez 22:26N’awali empaka be banaayimiriranga okusala omusango; ng’emisango gyange bwe giri bwe banaazisalanga: era bakwatenga amateeka gange n’ebiragiro byange mu mbaga zange zonna ezaalagirwa; era batukuzenga ssabbiiti zange. 2544:25 Leev 21:1-3So tebasembereranga mufu yenna okwegwagwawaza: naye olwa kitaabwe oba nnyaabwe oba mutabani waabwe oba muwala waabwe, olwa muganda waabwe oba mwannyinaabwe atabanga na bba, bayinza okweyonoona. 2644:26 Kubal 19:11,12Awo bw’amalanga okulongoosebwa, bamubalirenga ennaku musanvu. 2744:27 Leev 4:3Awo ku lunaku lw’anaayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw’omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera Mukama Katonda. 2844:28 Kubal 18:20, Ez 45:4Era baliba n’obusika; nze ndi busika bwabwe: so temubawanga butaka mu Isiraeri; nze butaka bwabwe. 2944:29 Kubal 18:9,10,14, Mal 3:10Banaalyanga ekiweebwayo eky’obutta n’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kinaabanga kyabwe. 30N’ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone byammwe byonna binaabanga bya bakabona: era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka, okutuuza omukisa ku nnyumba yo. 3144:31Leev 22:8Bakabona tebalyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka newakubadde eyataagulwa oba nnyonyi oba nsolo.