
4
1Era, omwana w’omuntu, weddirire ettoffaali oliteeke mu maaso go, oliwandiikeko ekibuga, Yerusaalemi: 24:2 2 Bassek 25:1, Ez 21:22okizingize, okizimbireko ebigo, okituumireko ekifunvu; era teekawo ensiisira okukirumba, okisimbeko ebitomera enjuyi zonna. 34:3 Is 8:18; 29:3, Ez 12:6; 21:2Era weddirire ekikalango eky’ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga: okisseeko amaaso go, kale kirizingizibwa, naawe olikizingiza. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isiraeri.
4Era nate galamiririra ku lubiriizi lwo olwa kkono, oluteekeko obutali butuukirivu bw’ennyumba ya Isiraeri: ng’omuwendo gw’ennaku bwe guliba z’oligalamiririra ku lwo, bw’olyetikka obutali butuukirivu bwabwe. 54:5 Kubal 14:34, Ez 23:4,5,9,10Kubanga ntaddewo emyaka egy’obutali butuukirivu bwabwe okuba gy’oli omuwendo gw’ennaku, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda: bw’otyo bw’olyetikka obutali butuukirivu obw’ennyumba ya Isiraeri. 64:6 Ez 23:11,12Era nate bw’oliba ng’omaze ezo, oligalamiririra ku lubiriizi lwo olwa ddyo, olyetikka obutali butuukirivu obw’ennyumba ya Yuda: ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka, bwe nnabuteekerawo gy’oli. 7Era osse amaaso go eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, omukono gwo nga gubikkuddwako; era olikiragulirako. 84:8 2 Bassek 25:1-3, Ez 3:25Era, laba, nkuteekako enjegere, so tokyukanga okugalamiririra ku lubiriizi olulala, okutuusa lw’olimala ennaku ez’okuzingiza kwo. 9Era weetwalire eŋŋaano ne sayiri n’ebijanjaalo ne kawo n’omuwemba n’obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weegoyere omugaati nabyo; ng’omuwendo gw’ennaku z’oligalamiririra ku lubiriizi lwo, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda, bw’onooliirangako bw’otyo. 10N’emmere yo gy’onoolyanga eneepimibwanga, sekeri amakumi abiri buli lunaku: onoogiriiranga mu ntuuko zaayo. 11Era onoonywanga amazzi agagerebwa, ekitundu ekya yini eky’omukaaga: onoonyweranga mu ntuuko zaago. 12Era onoogiryanga nga migaati gya sayiri, era onoogyokeranga mu mazzi agava mu bantu, bo nga balaba. 134:13 Dan 1:8, Kos 9:3Awo Mukama n’ayogera nti Era bwe batyo n’abaana ba Isiraeri banaalyanga emmere yaabwe nga si nnongoofu mu mawanga gye ndibagobera. 144:14 Kuv 22:31, Leev 7:18,24, Is 65:4, Bik 10:14Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba emmeeme yange teyonoonebwanga: kubanga okuva ku buto bwange na buli kati siryanga ku ekyo ekifa kyokka newakubadde ekitaaguddwa ensolo; so n’ennyama ey’omuzizo teyingiranga mu kamwa kange. 15Awo n’alyoka aŋŋamba nti Laba, nkuwadde obusa bw’ente mu kifo ky’amazzi ag’abantu, era onoolongooserezanga okwo omugaati gwo. 164:16 Leev 26:26, Zab 105:16, Ez 5:16; 12:19Era nate n’aŋŋamba nti Omwana w’omuntu, laba, ndimenya omuggo ogw’omugaati mu Yerusaalemi: kale banaalyanga omugaati nga bagupima era nga beeraliikirira; era banaanywanga amazzi nga bagagera era nga basamaalirira: 174:17 Leev 26:39, Ez 24:23babulwe omugaati n’amazzi, era basamaaliriragane, ne bayongoberera mu butali butuukirivu bwabwe.