
35
1Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 235:2 Ez 25:12nti Omwana w’omuntu, simba amaaso go okwolekera olusozi Seyiri, olulagulireko, 335:3 Yer 49:17, Ez 33:28olugambe nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi Seyiri, era ndikugololerako omukono gwange, era ndikufuula okuba amatongo n’ekyewuunyo. 435:4 Is 6:11Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo; kale olimanya nga nze Mukama. 535:5 Zab 137:7, Am 1:11, Ez 21:25Kubanga wabanga n’obulabe obutaggwaawo, n’owaayo abaana ba Isiraeri eri obuyinza obw’ekitala mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’obutali butuukirivu obw’enkomerero: 635:6 Zab 109:17kale, nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n’omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, omusaayi kyeguliva gukucocca. 7Bwe ntyo ndifuula olusozi Seyiri okuba ekyewuunyo n’amatongo; era ndimalawo okwo oyo ayitamu n’oyo akomawo. 835:8 Ez 31:12Era ndijjuza ensozi zaayo abaayo abattibwa: abattibwa n’ekitala baligwa ku nsozi zo ne mu biwonvu byo ne mu nsalosalo zo zonna ez’amazzi. 935:9 Mal 1:3,4Ndifukuula amatongo agataliggwaawo, so n’ebibuga byo tebirituulwamu: kale mulimanya nga nze Mukama. 1035:10 Ez 36:2,5; 37:22; 48:35Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n’ensi zino zombi biriba byange, naffe tuligirya; naye Mukama yali eyo: 11kale, nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ndikola ng’obusungu bwo bwe buli era ng’obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango. 1235:12 2 Bassek 19:4Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng’oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya. 13Era mwanneegulumirizaako n’akamwa kammwe, era munnyongeddeko ebigambo byammwe: nze mpulidde. 1435:14 Is 65:13,14Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ettaka lyonna bwe lirisanyuka, ndikufuula ggwe amatongo. 1535:15 Ez 36:5Nga bwe wasanyukira obusika obw’ennyumba ya Isiraeri kubanga bwafuulwa amatongo, bwe ntyo bwe ndikukola ggwe: oliba nga ofuuliddwa amatongo, ai olusozi Seyiri ne Edomu yonna, yonna bwe yenkana: kale balimanya nga nze Mukama.