
30
1Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera 230:2,3 Is 1:6, Ez 34:12, Yo 2:1nti Omwana w’omuntu, lagula oyogere nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Muwowoggane nti Zisanze olunaku! 3Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama lwe luli okumpi, olunaku olw’ebire; kiriba kiseera kya bannaggwanga. 430:4 Ez 29:8,19Era ekitala kiririnnya ku Misiri, n’obubalagaze buliba Buwesiyopya, abo abattiddwa bwe baligwa mu Misiri; era baliggyawo olufulube lw’abantu baamu, n’emisingi gyayo girimenyekera ddala. 5Obuwesiyopya, ne Puti, ne Ludi, n’abantu bonna abaatabulwa, ne Kubu, n’abaana bonna ab’ensi eragaanye, baligwa wamu nabo n’ekitala.
6Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Era n’abo abakwatirira Misiri baligwa, n’amalala ag’obuyinza bwayo galikankana: okuva ku kigo eky’e Sevene baligwa omwo n’ekitala, bw’ayogera Mukama. 730:7 Ez 29:13Era baliba nga balekeddwawo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n’ebibuga byayo biriba wakati mu bibuga ebyazisibwa. 8Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukuma omuliro mu Misiri, n’ababeezi baayo bonna nga bazikiridde. 9Ku lunaku olwo ababaka balitambula nga bava mu maaso gange nga bagenderera mu byombo okutiisa Abesiyopya abeegolola; kale obubalagaze buliba ku bo, nga ku lunaku lwa Misiri; kubanga, laba, lujja.
1030:10 Ez 29:19Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Era ndikomya olufulube lw’abantu ba Misiri n’omukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni. 1130:11 Ez 28:7; 29:8Ye n’abantu be awamu naye, ab’entiisa ab’omu mawanga, baliyingizibwa okuzikiriza ensi; era balisowola ebitala byabwe okulwanyisa Misiri, ne bajjuza ensi abo abattiddwa. 1230:12 Is 19:4-6, Ez 29:10Era ndikaza emigga, ne ntunda ensi mu mukono gw’abantu ababi; era ndirekesaawo ensi ne byonna ebirimu n’omukono gwa bannaggwanga: nze Mukama nkyogedde.
1330:13 Is 19:16, Yer 43:12, Zek 10:11Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Era ndizikiriza n’ebifaananyi, era ndimalamu esanamu mu Noofu; so tewaliba nate mulangira ava mu nsi y’e Misiri: era nditeeka entiisa mu nsi y’e Misiri. 1430:14 Ez 28:18Era ndirekesaawo Pasulo, ne nkuma omuliro mu Zowani, ne ntuukiriza emisango mu No. 15Era ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri; era ndimalawo olufulube olw’abantu ba No. 16Era ndikuma omuliro mu Misiri; Sini kiriba n’obubalagaze bungi, ne No kirimenyeka: ne Noofu kiriba n’abalabe emisana. 17Abalenzi ba Aveni n’aba Pibesesi baligwa n’ekitala: n’ebibuga bino birigenda mu basibe. 1830:18 Ez 30:6, Am 8:9Era e Tekafunekeesi n’omusana gulyeggyawo, bwe ndimenyera eyo ebikoligo bya Misiri, n’amalala ag’obuyinza bwayo galiggwaawo omwo: nakyo ekire kirikibikkako, ne bawala baakyo baligenda mu busibe. 19Bwe ntyo bwe ndituukiriza emisango mu Misiri: kale balimanya nga nze Mukama.
2030:20 Ez 26:1; 29:17Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omwezi olw’omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 2130:21 Yer 30:13; 48:25nti Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri; era, laba, tegusibiddwa okusiigako eddagala, okussaako ekiwero okugusiba, gubeere n’amaanyi okukwata ekitala. 22Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Laba, ndi mulabe wa Falaawo kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyeka; era ndigwisa ekitala okuva mu mukono gwe. 2330:23 Ez 29:12Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga, era ndibataataaganyiza mu nsi nnyingi. 24Era ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe: naye ndimenya emikono gya Falaawo, kale alisindira mu maaso ge ng’omuntu afumitiddwa okufa bw’asinda. 25Era ndisitula emikono gya kabaka w’e Babulooni, n’emikono gya Falaawo girikka; kale balimanya nga nze Mukama, bwe nditeeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikigololera ku nsi y’e Misiri. 26Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi; kale balimanya nga nze Mukama.