
25
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 225:2 Ez 21:20,28nti Omwana w’omuntu, simba amaaso go okwolekera abaana ba Amoni, obalagulireko: 325:3 Ez 7:22,26; 26:2ogambe abaana ba Amoni nti Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw’ati bw’ayogera Mukama nti Kubanga wayogera nti Nyeenya, eri awatukuvu wange, bwe wayonooneka; n’eri ensi ya Isiraeri bwe yazisibwa; n’eri ennyumba ya Yuda bwe baagenda mu busibe: 425:4 Balam 6:3laba, kyendiva nkuwaayo eri abaana ab’ebuvanjuba okuba obutaka, kale balisiisira ensiisira zaabwe mu ggwe, ne batuula mu ggwe; balirya ebibala byo, era balinywa amata go. 525:5 Zef 2:15Era ndifuula Labba okuba ng’ekisibo eky’eŋŋamira, n’abaana ba Amoni okuba ng’ekifo embuzi we zigalamira: kale mulimanya nga nze Mukama. 625:6 Is 55:12Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Kubanga okubye mu ngalo, n’osamba n’ebigere, n’osanyukira ku nsi ya Isiraeri n’ekyejo kyonna eky’omu mmeeme yo; 7laba, kyenvudde nkugololerako omukono gwange, era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga; era ndikuzikiriza mu mawanga, ne nkumalamu mu nsi ezo: ndikufaafaaganya; kale olimanya nga nze Mukama.
825:8 Is 15:1-9, Yer 48:1-47, Ez 25:12Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Mowaabu ne Seyiri boogera nti Laba, ennyumba ya Yuda efaanana amawanga gonna; 9laba, kye ndiva mbaggulira abaana b’ebuvanjuba oluuyi lwa Mowaabu okuva mu bibuga, okuva mu bibuga bye ebiri ku nsalo ye, ekitiibwa eky’ensi, Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu, 1025:10 Ez 21:32okutabaala abaana ba Amoni, era ndibawa okuba obutaka, abaana ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga: 11era ndituukiriza emisango ku Mowaabu; kale balimanya nga nze Mukama.
1225:12 2 Byom 28:17, Zab 137:7, Yer 49:7-22, Ez 35:2-6, Am 1:11,12, Ob 1-21Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Edomu akoze bubi ennyumba ya Yuda ng’awalana eggwanga, era ayonoonye nnyo era yeewalanidde eggwanga ku bo; 13Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne mmumalamu abantu n’ensolo: era ndigizisa okuva e Temani: okutuuka e Dedani baligwa n’ekitala. 1425:14 Is 11:14, Am 9:12, Ob 18Era nditeeka eggwanga lyange ku Edomu n’omukono gw’abantu bange Isiraeri; era balikolera mu Edomu ng’obusungu bwange bwe buli era ng’ekiruyi kyange bwe kiri: kale balimanya okuwalana kwange, bw’ayogera Mukama Katonda.
1525:15 Is 14:29-31, Am 1:6-8Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Abafirisuuti bakoze nga bawalana eggwanga, era bawalanye eggwanga emmeeme yaabwe ng’eriko ekyejo, okugizikiriza n’obulabe obutaggwaawo; 1625:16 Zef 2:5Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Laba, ndigololera ku Bafirisuuti omukono gwange, era ndimalawo Abakeresi, ne nzikiriza ekitundu ekifisseewo eky’oku ttale ly’ennyanja. 1725:17 Ez 6:7Era ndiwalana ku bo eggwanga ekkulu nga mbanenya n’ekiruyi: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibateekako eggwanga lyange.