
21
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 2nti Omwana w’omuntu, simba amaaso go okwolekera e Yerusaalemi, otonnyese ekigambo kyo okwolekera ebifo ebitukuvu, olagulire ku nsi ya Isiraeri; 321:3 Yob 9:22, Yer 47:6ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala omutuukirivu n’omubi. 421:4 Ez 20:47Kale kubanga ndikumaliramu ddala omutuukirivu n’omubi, ekitala kyange kyekiriva kifuluma mu kiraato kyakyo okutabaala bonna abalina omubiri, okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono: 521:5 Ez 20:48; 21:30kale bonna abalina omubiri balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo; tekiridda nate lwa kubiri. 621:6 Is 22:4, Ez 12:3Kale ssa ebikkowe, ggwe omwana w’omuntu; amabega go nga gakusonjose era ng’oliko obuyinike bw’olissa ebikkowe bw’otyo bo nga balaba. 721:7 Ez 7:5,6,17; 39:8Kale olunaatuuka bwe banaakugamba nti Lwaki ggwe okussa ebikkowe? n’oyogera nti Olw’ebigambo ebiwuliddwa, kubanga bijja: na buli mutima gulisaanuuka, n’emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n’amaviivi gonna galiba manafu ng’amazzi: laba, bijja, era birikolebwa, bw’ayogera Mukama Katonda.
8Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 9nti Omwana w’omuntu, lagula oyogere nti Bw’ati bw’ayogera Mukama nti yayogera nti Ekitala, ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa: 10kiwagaddwa kitte ekiwendo; kiziguddwa kibe ng’enjota: kale tunaasanyuka? omuggo ogw’omwana we gunyooma buli muti. 11Era kiweereddwayo okuzigulwa kiryoke kikwatibwe: ekitala kiwagaddwa, weewaawo, kiziguddwa, okukiwaayo mu mukono gw’omussi. 1221:12 Yer 31:19Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n’abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo. 13Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omuggo nagwo ogugaya bwe guliba nga tegukyaliwo? bw’ayogera Mukama Katonda. 1421:14 Kubal 24:10, 2 Bassek 24:1,10; 25:1, Ez 22:13Kale ggwe, omwana w’omuntu, lagula okube mu ngalo; ekitala kyongerwe omulundi ogw’okusatu, ekitala eky’abafumitiddwa okufa: kye kitala ky’omukulu, afumitiddwa okufa, ekiyingira mu bisenge byabwe. 15Ntadde omumwa gw’ekitala ku miryango gyabwe gyonna, omutima gwabwe gusaanuuke n’okwesittala kwabwe kwongerwe nnyo: ee! kifuuse ng’enjota, kisongoddwa olw’okutta. 16Weekuŋŋaanye, tambulira ku gwa ddyo; tala, tambulira ku gwa kkono; yonna yonna amaaso go gye goolekera. 1721:17 Ez 5:13; 17:24Era ndikuba mu ngalo, ne nzikusa ekiruyi kyange: nze Mukama nkyogedde.
18Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera 19nti Era, omwana w’omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni mwe kinaafuluma; ago gombi galiva mu nsi emu: olambe ekifo, okirambire ekkubo eridda mu kibuga we lisibuka. 2021:20 Yer 49:1-6, Ez 25:1-5, Am 1:13-15Oteekewo ekkubo ekitala mwe kinaafuluma okutuuka e Labba eky’abaana ba Amoni n’okutuuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko enkomera. 2121:21 Lub 31:19Kubanga kabaka w’e Babulooni yayimirira mu masaŋŋanzira, amakubo gombi we gasibuka, okulagulwa: yazunzazunza obusaale, ne yeebuuza ku baterafi, n’akebera ekibumba. 2221:22 Ez 4:2Mu mukono gwe ogwa ddyo nga mulimu obulaguzi obw’e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okwasamira akamwa okutta, okuyimusa eddoboozi n’okwogerera waggulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo. 2321:23 Ez 17:13,20Era buliba gye bali ng’obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye ajjukiza obutali butuukirivu, balyoke bakwatibwe.
24Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Kubanga mujjukizizza obutali butuukirivu bwammwe, kubanga okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n’okulabika ne birabika mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mujjukiddwa, mulikwatibwa n’omukono. 2521:25 Ez 17:19; 35:5Naawe, ai ggwe omubi afumitiddwa okufa, omukulu wa Isiraeri, ajjiriddwa olunaku lwo, mu biro eby’obutali butuukirivu obw’enkomerero; 2621:26 Ez 17:24, Luk 1:52bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, okkakkanye ebigulumizibwa. 2721:27 Lub 49:10, Zek 6:12,13Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n’ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw’alijja, era ndikimuwa.
28Naawe, omwana w’omuntu, lagula oyogere nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eby’abaana ba Amoni n’eby’okuvuma kwabwe; oyogere nti Ekitala, ekitala kisowoddwa, kiziguliddwa ekiwendo, okukiriisa, kibeere ng’enjota: 29nga bwe baakulabira ebyayanga, nga bwe baakulagula eby’obulimba, okukuteeka ku nsingo z’ababi abafumitiddwa okufa abajjiddwa olunaku lwabwe, mu biro eby’obutali butuukirivu obw’enkomerero. 3021:30 Ez 21:5Kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi mwe wazaalirwa, mwe ndikusalirira omusango. 3121:31 Ez 22:20,21Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw’abantu abali ng’ensolo ab’amagezi okuzikiriza. 3221:32 Ez 25:10Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliba wakati mu nsi; tolijjukirwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde.