
2
12:1 Dan 8:17; 10:11N’aŋŋamba nti Omwana w’omuntu, yimirira ku bigere byo, nange naayogera naawe. 22:2 Ez 3:24Kale omwoyo ne guyingira mu nze bwe yayogera nange, ne gunnyimiriza ku bigere byange; ne mpulira oyo eyayogera nange. 32:3 Yer 3:25N’aŋŋamba nti Omwana w’omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga okutuukira ddala ku lunaku olwa leero. 42:4 Ez 3:25N’abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda. 52:5 Ez 3:11; 33:33Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo, (kubanga nnyumba njeemu,) era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi. 62:6 Yer 1:8, Ez 3:9, Mi 7:4, 1 Peet 3:14Naawe, omwana w’omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga biri naawe, era ng’obeera mu njaba ez’obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw’amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu. 7Era olibagamba ebigambo byange, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini. 82:8 Kub 10:9Naye ggwe, omwana w’omuntu, wulira kye nkugamba; tobanga ggwe mujeemu ng’ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa. 92:9 Ez 8:3, Dan 10:10, Kub 10:2Awo bwe nnatunula, laba, omukono ne gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw’ekitabo nga guli omwo; 102:10 Kub 5:1n’agwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n’okukungubaga n’obuyinike.