
19
119:1 Ez 26:17, Am 5:1Era nate tanula okukungubagira abakungu ba Isiraeri, 219:2 Lub 49:9oyogere nti Nnyoko kyali kiki? Mpologoma nkazi: yagalamiranga mu mpologoma, wakati mu mpologoma ento mwe yayonseza abaana baayo. 319:3 2 Bassek 23:30,31N’akuza emu ku baana baayo; n’eba mpologoma ento: n’eyiga okukwata omuyiggo, n’erya abantu. 419:4 2 Bassek 23:34,36, Kung 4:20Era n’amawanga ne gagiwulira; yakwatibwa mu bunnya bwabwe; ne bagireeta n’amalobo mu nsi y’e Misiri. 5Awo enkazi bwe yalaba ng’erindiridde n’essuubi lyayo nga libuze, n’eryoka eddira omwana gwayo omulala, n’egufuula empologoma ento. 6N’etambulatambula mu mpologoma, yafuuka empologoma ento: era yayiga okukwata omuyiggo, yalya abantu. 7Era yamanya amayumba gaabwe, n’ezisa ebibuga byabwe; ensi n’erekebwawo ne byonna ebyalimu olw’eddoboozi ery’okuwuluguma kwayo. 819:8 2 Bassek 24:1,2, Ez 12:13Awo amawanga ne bagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n’ekwatibwa mu bunnya bwabwe. 919:9 2 Byom 36:6Ne bagisiba mu jjiririzo n’amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwala mu bigo, eddoboozi lyayo lireme okuwulirirwa nate ku nsozi za Isiraeri.
1019:10 Zab 80:9, Ez 15:6Nnyoko yali ng’omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbibwa awali amazzi: yali mugimu, yajjula amatabi olw’amazzi amangi. 11Era yalina emiggo eminywevu okuba emiggo egy’obwakabaka egy’abo abaafuganga, n’obukulu bwabwe bwagulumizibwa wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw’obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw’amatabi gaabwe. 1219:12 Ez 17:10, Kos 13:15Naye yasimbulibwa olw’ekiruyi, yasuulibwa wansi, embuyaga ez’ebuvanjuba ne zikaza ebibala bye: emiggo gye eminywevu ne giwogokako ne giwotoka; omuliro ne gugookya. 1319:13 2 Bassek 24:12-16, Kos 2:3Awo kaakano asimbiddwa mu ddungu, mu nsi enkalu ey’ennyonta. 14Era omuliro guvudde mu miggo egy’amatabi ge, gwokezza ebibala bye, ne kutaba ku ye omuggo munywevu okuba omuggo ogw’obwakabaka ogw’okufuga. Ebyo bya kukungubaga, era biriba bya kukungubaga.