
15
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 215:2 Zab 80:8, Ez 19:10-14nti Omwana w’omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omuti gwonna, oba ettabi ery’ogumu ku miti egy’omu kibira? 3Banaggyangako emiti okukola omulimu gwonna? oba abantu banaggyangako ekikondo okuwanikako ekintu kyonna? 415:4 Yok 15:6Laba, bagusuula mu muliro okuba enku: omuliro gugwokezza eruuyi n’eruuyi ne wakati waagwo wayidde; guliko kye gugasa olw’omulimu gwonna? 5Laba, bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwasaanira mulimu gwonna: kale omuliro nga gugwokezza era nga guyidde gukyasaanira gutya omulimu gwonna? 6Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Ng’omuzabbibu mu miti egy’omu kibira, gwe mpaddeyo eri omuliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi. 715:7 Yer 21:10, Ez 6:7; 14:8Era ndikakasa amaaso gange okuboolekera; balifuluma mu muliro, naye omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndikakasa amaaso gange okuboolekera. 815:8 6:14; 14:13Era ndizisa ensi kubanga basobezza, bw’ayogera Mukama Katonda.