
13
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 213:2 Yer 23:16nti Omwana w’omuntu, lagulira ku bannabbi ba Isiraeri abalagula, obagambe abo abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo, nti Muwulire ekigambo kya Mukama; 3bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe bo, so nga tebaliiko kye balabye! 4Ai Isiraeri, bannabbi bo baabanga ng’ebibe mu bifo ebyalekebwawo. 513:5 Ez 22:30Temwambukanga mu bituli ebyawagulwa, so temuddaabiririzanga nnyumba ya Isiraeri olukomera, luyimirire mu lutalo ku lunaku lwa Mukama. 613:6,7 Yer 5:31; 14:14, Ez 12:24; 22:28Balabye ebitaliimu n’obulaguzi obw’obulimba abo aboogera nti Mukama ayogera; so nga Mukama tabatumye: era basuubizizza abantu ng’ekigambo kigenda okunywezebwa. 7Temulabye kwolesebwa okutaliimu, era temwogedde bulaguzi bwa bulimba, kubanga mwogera nti Mukama ayogera: era naye soogeranga?
8Mukama Katonda kyava ayogera nti Kubanga mwogedde ebitaliimu, era mulabye eby’obulimba, kale, laba, ndi mulabe wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda. 913:9 Nek 7:5, Ez 20:38Era omukono gwange guliba mulabe wa bannabbi abalaba ebitaliimu ne balagula eby’obulimba: tebaliba mu abo abateesa ab’omu bantu bange, so tebaliwandiikibwa mu kiwandiike eky’ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama Katonda. 1013:10 Yer 6:14, Ez 22:28Kubanga, weewaawo, kubanga basenzesenze abantu bange, nga boogera nti Mirembe; so nga tewali mirembe; era omuntu bw’azimba ekisenge, laba, bakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi: 1113:11,13 Ez 38:22bagambe abo abakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi nga kirigwa: walibaawo enkuba ekulukuta ennyo; nammwe, amayinja ag’omuzira amanene, muligwa; ne kibuyaga omungi alikimenya. 12Laba, ekisenge bwe kiriba nga kigudde, temuligambibwa nti Okusiigako kwe mwakisiigako kuli ludda wa? 13Kale bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ndikimenyera ddala ne kibuyaga mungi nga ndiko ekiruyi; era walibaawo enkuba ekulukuta ennyo nga ndiko obusungu, n’amayinja ag’omuzira amanene okukimalawo. 14Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi, ne nkissa wansi, omusingi gwakyo n’okweruka ne gweruka: era kirigwa, nammwe mulimalibwawo wakati mu kyo: kale mulimanya nga nze Mukama. 15Bwe ntyo bwe ndituukiriza ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi; era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako; 16be bannabbi ba Isiraeri abalagula ebya Yerusaalemi era abakirabira okwolesebwa okw’emirembe, so nga tewali mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.
1713:17 Ez 13:2Naawe, omwana w’omuntu, kakasa amaaso go okwolekera abawala b’abantu bo, abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo; era balagulireko 18oyogere nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abakazi abatungira ebigugu ku nkokola zonna, era abakolera ebiwero emitwe gy’abantu aba buli kigera okuyigga obulamu! Muliyigga obulamu bw’abantu bange, ne muwonya mwekka obulamu bwammwe okufa? 1913:19 Nge 28:21, Mi 3:5Era mwanvumisa mu bantu bange olw’embatu eza sayiri n’olw’ebitole eby’emigaati okutta obulamu obutaggwana kufa, n’okuwonya obulamu okufa obutagwana kuba bulamu, nga mulimba abantu bange abawulira eby’obulimba. 20Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Laba, ndi mulabe wa bigugu byammwe bye muyizza obulamu eyo okububuusa, era ndibisika okubiggya ku mikono gyammwe; era nditta obulamu, obulamu obwo bwe muyigga okububuusa. 21Era n’ebiwero byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama. 2213:22 Yer 23:14, Ez 18:21Kubanga muwuubazizza n’eby’obulimba omutima gw’omutuukirivu nze gwe siwuubaazanga; ne munyweza emikono gy’omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n’awona nga mulamu: 2313:23 Ez 12:24; 34:10kyemuliva mulema okulaba nate ebitaliimu newakubadde okulagula obulaguzi: nange ndiwonya abantu bange mu mukono gwammwe; kale mulimanya nga nze Mukama.